
Pookina Mayiga ng'ayogera eri aba SACCO ya Lukaya Fans Club.
BYA SSENNABULYA BAAGALAYINA
POOKINO (Owessaza Buddu) Vincent Mayiga Ssebbowa akunze Bannabuddu bettanire ebibiina by'obwegassi lwe bajja okwegobako obwavu.
Amagezi gano yagaweeredde ku mukolo gwa Lukaya Fans Club SACCO gye yabadde omugenyi omukulu mu nsisinkano yaabwe eya buli mwaka.
"Mbakubiriza mugende mu maaso n'obwegassi kuba bwe tutambulira awamu tutuuka wala, era mukole nnyo n'okuyambagana mu kwetuusaako ebirungi",bwe yakkaatirizza.
Omubalirizi w'ebitabo Daniel Mwase owa MDJ and Partners yabakakasizza nti SACCO yaabwe ekyatambula bulungi mu by'ensimbi ng'asinziira ku magoba ge baakola mu 2017 a'obukadde 131 nga kati gaalinnye ku bukadde 165.
Mwase era yagasseeko nti bammemba 33 be baatandika SACCO eno kyokka kati baweze 1,500 oluvannyuma lw'emyaka kkumi.
Alipoota y'omuwanika Kasumba Charles Ssekitto era omwami wa Kabaka ow'eggombolola ye Bukulula/Lukaya yalaze nti ebyobugagga bya SACCO bizitowa akawumbi kalamba.
DPC Abraham Tukundane ne Meeya Gerald Makers Ssennyondo baakuutidde abaakiiko obutazannyira mu ssente z'abeegassi.
Ate Daniel Bakayana, Omumyuka wa Kasumba yabakubirizza okwetabanga mu misomo gy'ebyenkulaakulana okufunayo amagezi bongere okuggumizza SACCO yaabwe.