TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Ssebulime balangidde minisita Nantaba okujaguza olw'okufa kweSsebulime

Aba Ssebulime balangidde minisita Nantaba okujaguza olw'okufa kweSsebulime

Added 20th May 2019

FAMIRE ya Ronald Ssebulime banyiivu olwa kye baayise Minisita Nantaba okwongera okubalaata n’atuuka n’okujaguza okusimattuka ‘abatemu’ nga poliisi yamala dda okukakasa nti, Sebulime yattibwa mu bukyamu, teyalina kakwate na bya kukola bulabe ku Minisita Famire ng’eyita mu looya waayo Nkunyingi Muwada, yafulumizza ekiwandiiko eggulo ng’etegeeza nti, Ssebulime yattibwa mu bukaymu abaserikale oluvannyuma lwa Nantaba okubawa amawulire amafu nti yali amulodoola.

Baategeezezza nti mu kiseera kino omuserikale Cpl. David Ssali avunaanibwa mu kkooti e Mukono naye Nantaba eyawa amawulire amafu ayinaayina era yatuuse n'okujaguza kye yayise okusimattuka ‘abatemu'.

Baayongeddeko nti n'omuserikale eyawa Cpl. Ssali ebiragiro okutta Ssebulime naye takwatibwanga ng'ate amasimu ge n'ebyo bye yayogera ng'alagira okutta basobola okubifuna.

Baagambye nti Ssebulime yaleka abaana bawala ate nga bali mu myaka mito, naye tebamanyi oba bano baneeyongerayo okusoma kuba kitaabwe ye yali abaweerera ate nga ne nnyaabwe yafa eyandibadde abeerawo.

Mwannyina wa Ssebulime, Irene Nakazibwe yategezezza nti famire terina busobozi buweerera baana bano kumalako kusoma kuba kitaabwe eyali ayiiya ssente ezibaweerera yafa nga kati tebamanyi kiddako.

"Tulina okutya nti abaana baffe bayinza okuremwa okusoma ekiyinza okubaviirako okufuna ebizibu eby'enjawulo naye Gavumenti tevangayo wadde okutuyamba nga mu kino tusaba ensonga zaffe bazikwate n'amaanyi kuba omuserikale waabwe yatta mwannyinaze nga tamaze kukola kunoonyereza kwonna", Nakazibwe bwe yayongeddeko.

Basabye Ssaabalamuzi wa Uganda, Bart Katureebe, Ssaabawolereza wa Gavumenti William Byaruhanga n'ebitongole by'ebyokwerinda byonna okulaba ng'obwenkanya bubaawo.

Ronald Ssebulime yattibwa nga March 24, 2019 e Nagojje bwe yateeberezebwa okulondoola Minisita omubeezi owa ICT Idah Nantaba n'ekige ndererwa eky'okumu tta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.