TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bugingo ennyumba gye yazimbidde Suzan emwogezza ebikankana: Omugabi eyeeseera aba mukodo, siyinza kubeera mu ffumbiro ne nkaaba enjala'

Bugingo ennyumba gye yazimbidde Suzan emwogezza ebikankana: Omugabi eyeeseera aba mukodo, siyinza kubeera mu ffumbiro ne nkaaba enjala'

Added 20th May 2019

OMUSUMBA Aloysius Bugingo akudaalidde abantu ababadde balowooza nti, enju ye gaggadde gy’azimbira omugole Susan Makula Nantaba yakozesezza ku ssente z’ekkanisa n’abakontola nti ebigambo tebimuyigula ttama, ennyumba ya Suzan akyayongera okugissaako obutitimbe bwa ssente n’agamba nti bw’enaggwa, beeruma batuuse okwetta kubanga egenda kubeera galikwoleka.

Bugingo yabadde mu kusaba ku Ssande mu kkanisa ye eya House Of Prayer Ministries International e Makerere n'ategeeza nti abo aboogera bajja kwogerera bakoowe kubanga ye yamalayo, Katonda yamuweesa emikono ebiri wadde ng'e Masaka yaviirayo ku loole ey'ekika kya Ifa.

Wadde kaabadde kaseera ka kubuulira njiri, Bugingo teyajulizza Bayibuli oba okuggyayo ekyawandikibwa kyonna wabula yatutte ebiseera nga yeewaana nga bwe yazimbye ennyumba Obuganda bulamba n'agamba abagoberezi be nti, aboogerera ennyumba ,tebannalaba kiri munda kubanga eddiiro lyokka lyenkana ekisaawe ky'omupiira.

" Ekkanisa eno yonna nsobola okugikyaza mu nnyumba eyo gye mwalabye. Mukubire Mukama engalo ezaamaanyi kubanga nze yampadde. Abaganda bagamba omugabi teyeesera, nze siyinza kubeera mu ffumbiro ne nkaaba enjala", Bugingo bwe yagambye.

Bugingo yayongeddeko nti abo bonna abeewuunya ennyumba ye naye abeewuunya oba nga baali balowooza nti omufumbi abeera mu kiyungu ate asobola okufa enjala n'agamba nti abo bonna bagenda kweyimbamu ogwa kabugu bwe banaddamu okugiraba mu mawulire ng'ewedde kubanga akimanyi nti amawulire gamulondoola era galina okugibalaga.

"Oli wa ddembe okumpita kyonna ky'oyagala oba mubbi, oba malaaya, oba mulimba naye ky'olina okumanya nze siri mubbi wabula Katonda yampeesa emikono ebiri ye ani yakugamba nti omuntu abeera mu kiyungu asobola okusula enjala? Ate n'Abaganda bagamba nti, omugabi teyeeseera bwe yeeseera abeera wa ntondo", Bugingo obwedda alinga eyeewozaako wakati mu nduulu okuva mu bagoberezi.

Yayongedde nti aludde ng'akubiriza abantu okuzimba ennyumba bave mu bupangisa era yakulemberamu kampeyinni y'okukubiriza abantu okuzimba gye yatuuma ‘Operation Build the House' era abasinga bazimba kati baali balowooza nti akubiriza abantu kuzimba nga ye tazimba .

"Mwali mwagala mbasabire muzimbe zi kalina nga nze sirinaamu yange, nze sibuulira bye sisobola kukola tebakulimba sibangako musiru ate ku ssente za Pentagon siggyangako wadde ekikumu kubanga ssi nze assaako emikono mu kuggyayo ssente zino era tetutoolangako wadde n'ekikumi", Bugingo obwedda bw'akakasa abagoberezi be wakati mu nduulu.

Wabula abamu ku bagoberezi beebuuza ssente gy'aziggya kubanga tebamanyiiyo bizinensi yonna gy'akola era ssente ateekwa okuba ng'aziggya mu kkanisa n'eby'ekkanisa nga laadiyo de ttivvi.

Era baagala ajjukire nti ku ssente ezisondebwa mu kkanisa mwe mwava ggoloofa gy'abadde asulamu mne Teddy nga kiba kikyamu okugamba nti abadde talina nnyumba egya mu Paasita waabwe.

Bugingo yagambye nti yasalawo okuva e Kampala mu mugotteko agende e Namayumba mu kitundu ekyesudde Kampala kubanga yo ettaka likyali lya layisi ate wanene era enyumba bw'eneeba ewedde ajja kuba asobola okukyalizaayo abantu abatuula mu kkanisa ye nga bagyamu bulungi.

ABAGOBEREZI BAMUSONDEDDE EZA LANGI N'AMADIRISA

Wakati mu kwewaana n'okuvuma abaakuba ennyumba ye ebifaananyi ne babiraga mu mawulire, Bugingo yategeezezza nga bwe yeetaaga ssente ezigiggala n'okukuba langi n'abasaba bamusondere era yabadde tannakiggya mu kamwa abagoberezi ne batandika okumuyiira ssente ng'eno ye bw'akuba enduulu n'okuyimba obuyimba obullumya nga; ‘Ani yaabagamba yeeee, nti abaana ba Yesu mubasobola yeeee, musobola bali ab'omu kyalo yeeee, abambala empale ez'ebiwujjo, bakira ayimba ennyimba zino ng'abantu beeyongeera kuleeta ssente era yabalagidde baazisuule awo ku kituuti n'ategeeza nga enkya bw'agenda okuyita abazimbi bamalirize .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...