TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bugingo ateeredde akaka abamusekeeterera: Abayise balogo

Bugingo ateeredde akaka abamusekeeterera: Abayise balogo

Added 21st May 2019

PAASITA Aloysius Bugingo agambye nti abalondoola ennyumba ye empya gy’azimbye e Wakiso balogo bennyini.

 Paasita Bugingo mu kubuulira gye buvuddeko.

Paasita Bugingo mu kubuulira gye buvuddeko.

Yabyogeredde mu kusaba kw'amalya g'ekyemisana ku Mmande mu kkanisa ye eya House of Prayer Minisitries Internatinal e Makerere.

"Abantu abalogo tebalaga byabwe balaga bya bannaabwe.

Okuloga tekutegeeza kubeera na mayembe gokka, bw'oba tosobola kulaga nnyumba ya taatawo ate lwaki olaga eza banno?", bwe yeebuuzizza.

Yalumbye abamawulire abaakuba ennyumba ye ebifaananyi n'agamba abagoberezi okwegendereza bye basoma mu lupapula lwe yayise olwa Gavumenti. Bino biddiridde okulumba Bukedde nti amulondoola n'atuuka n'okuwandiika ebivumo Bugingo by'azze alangira Teddy.

Bugingo yaakalangira Teddy ebivumo 15, mu lujjudde ekivuddeko okussa Bugingo mu lubu lw'abasajja "abatalina nsa" abamansa ensonga z'omu maka ez'obufumbo. Era yakudaalidde basumba banne be yagambye nti bamukolokota nga balowooza nti basobola okumusuula n'ategeeza nti bamala bya mubulago kubanga ye musumba eyatumibwa mu kyasa kino.

"Nze ndi mubuulizi wa njiri ow'ekyasa kino ne bw'ononkolokota nja kusigala ng'enda mu maaso", bwe yagasseeko.

Yategeezeza nti abamulwanyisa yabakwasizza Katonda tajja kulwanagana nabo wabula Katonda y'alibasasula.

Yajulizza ebyawandiikibwa okuva mu Zabuli 94:1 nti agezaako okwonoona omwana w'omuntu, Katonda y'alimusasula.

Yasekeredde be yagambye nti balemera mu mbeera embi ne balemwa okugenda mu maaso wadde nga n'olumu emikisa gyabwe gibeera mu maaso n'ategeeza nga ye bwe yagaana okwesiba ku bikadde "Omukisa gwo teguli mu ‘past' guli mu maaso.

Olaba n'enseenene ezaakwatibwanga mu bisubi ebiteete kati bazikwatira ku mabaati agaliko amataala." N'abuuza abagoberezi: ggwe bw'oba nseenene ogwa ku ki?

Yayongeddeko nti bangi balindiridde okumwogerako nga bwe yaggwaamu nga kati batandise okuwakana n'abasaba basooke bamanye obuzito bwe bazitowa olwo balowooze ku ky'okumulumba

"Bw'obanga tonnaweza bitundu 50 ku 100 eby'omuntu gw'ogenda okuwalampa totawaana".

N'agumya abagoberezi be nti embeera gy'ayitamu ssi nnyangu naye bagume kubanga naye mugumu era mumativu nti terina gy'eyinza kumutwala.

Leero Bugingo ali mu kkooti enkulu ku musango ogwamuwawaabirwa omu ku baliraana be Hajji Ali Sserunjogi ng'awakanya ekya Bugingo n'ekkanisa okumulekaanira nga bali mu kusaba ne bamubuzaako emirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...