TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nantaba asonze ku bagenero 3 abaagala okumutta n'awa n'ensonga ze bamulanga

Nantaba asonze ku bagenero 3 abaagala okumutta n'awa n'ensonga ze bamulanga

Added 21st May 2019

MINISITA omubeezi ow’ebyatekinologiya Aidah Erios Nantaba ayogedde abanene mu Gavumenti abaagala okumutta nga bamulanga okubalemesa okunyaga ettaka ly’abantu.

Baminisita Kiwanda ne Nantaba nga bayimba

Baminisita Kiwanda ne Nantaba nga bayimba

Abanene abamulwanyisa agamba nti ba Genero mu magye era nga bazze bamulabula enfunda eziwerako nga bw'ajja okufuna obuzibu.

Nantaba yategeezezza Bukedde nti Genero omu y'akozesa omukungu wa NRM mu Kayunga, ng'ono azze afuna ettaka ly'abantu mu bukyamu e Kayunga, Mubende, Nakaseke n'ebitundu ebimu eby'obukiika kkono bw'eggwanga.

Mu ttaka erinyagiddwa mugendeddemu ery'ebibira e Kassanda, Mubende, Bugoma e Hoima, Galiraaya mu Kayunga, entobazzi ku luguudo lw'e Mukono-Kayunga nga mu kiseera kino kuliko essamba z'ebikajjo n'ebirala.

Waliwo ne Genero omulala gwe yayogeddeko eyasengula enkumi z'abantu e Kayunga, kyokka oluvannyuma Nantaba n'abiyingiramu ne baddako.

Ono yeeyambisa kkooti okutiisatiisa abantu n'okubaggulako emisango abagezaako okumulemesa okubasengula.

Ekiseera kyonna Nantaba y'abadde awaayo ssente z'okubeeyimirira mu mbuga z'amateeka. Ono olumu yamuyita n'amwatulira nga bw'amutiisatiisa nti; "Oli muwala muto atalina kyamanyi era toli mu bantu abaalwana mu Luweero nga tununula ensi eno. Tojja kusobola kumalako mu lutalo lw'oliko olw'ettaka".

Genero owookusatu yagambye nti afubye okulaba ng'awa abanyaga ettaka obukuumi. Buli we banyaga ettaka n'okusengula abantu ogugwe gwa kukakasa nti asindika bamukwatammundu ne bakuuma abanyazi.

Nantaba alumiriza nti abamulwanyisa azze aboogerako mu lujudde ng'avumirira ebikolwa byabwe, wadde nga baagaana okumwesonyiwa.

Olunaku lumu yafuna essimu okuva ew'eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga, AIGP Andrew Felix Kaweesi ng'amusaba basisinkane ekintu kye yakkiriza.

Baasisinkana ku wooteeri ya Serena era eyo Kaweesi gye yamusabira okusisinkana Genero omu, kyokka n'akigaana.

Kyokka mu kafubo ke baalimu mwe baamutegeereza nti Genero yali amusabye basisinkane boogeremu oba bwe kitaba ekyo alekeraawo okumwogerako kuba naye abeera akola mulimu gwa mukamaawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Katikkiro, Charles Peter Mayiga ng’aliko by’ayogera ne Emmanuel Katongole mu kusabira Kitaka e Lubaga.

Kabaka atenderezza emirimu ...

SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi atenderezza emirimu egikoleddwa Francis Xavier Kitaka eyafa...