TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Nantaba yakyasibye omusango ku bya Ssebulime - Poliisi

Minisita Nantaba yakyasibye omusango ku bya Ssebulime - Poliisi

Added 21st May 2019

POLIISI eyanukudde Minisita omubeezi owa tekinologiya, Idah Erios Nantaba, ku bya Ronald Ssebulime n’egamba nti y’akyasibye omusango guno okugenda obulungi olw’okugaana okuwa sitatimenti enzijuvu.

 Minisita Nantaba ne nnyina Lakeeri Naluwooza.

Minisita Nantaba ne nnyina Lakeeri Naluwooza.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Minisita Nantaba akyalemeddwa okukolagana obulungi ne poliisi okuwa sitatimenti eneeyamba okunoonyereza ku by'okumutisatiisa nga yakoma ku sitatimenti ye gye yeekolera etannyonnyola bulungi ku by'okumutiisatiisa okumutusaako obulabe.

"Minisita Nantaba aleme kulimba ku nsonga za Ssebulime ng'akimanyi bulungi nti sitatimenti gye yeewandikira erina ebigibulamu era atuukiriddwa enfunda eziwera akole sitatimenti enzijuvu naye yeebalama abaserikale abanoonyereza ku musango guno" Enanga bwe yagambye.

Yagambye nti sitatimenti gye yakola ebulamu ebintu bingi nga tennyonnyola nnyo ku by abantu abaamulondoola, kyokka bw'aba avuddeyo n'abaako by'annyonnyola mu sitatimenti endala emuggyiddwaako abaserikale bayinza okufuna ekinyusi we batandikira.

Yategeezezza nti eby'okumutiisatiisa Nantaba abyogerera mu mawulire talina ky'abuulidde poliisi nga ne lwe yasooka okugenda ku poliisi e Naggalama okugitegeeza nti waliwo abamulondoola kwe yakoma nga tebaddayo kumuwuliza.

Yagambye nti bw'aba alina okutiisibwatiisibwa kwonna akutwale ku poliisi ekunoonyerezeeko wabula bw'aba teyeesiga poliisi oba nga tamatira ngeri gy'ekolamu emirimu gyayo atuukirire ebitongole by'ebyokwerinda ebirala.

Yannyonnyodde nti poliisi eyagala okumanya okutiisibwatiisibwa Minisita Nantaba kw'ayogerako esobole okukunoonyerezaako n'engeri gye kwajjawo okusinga okudda mu mawulire.

Yannyonnyodde nti baafuna olukalala lw'amasimu Cpl. David Ssali avunaanibwa okukuba Ssebulime amasasi agaamuttirawo ne bakakasa nti tewali yamuwa kiragiro, kyokka yakikola ku lulwe era ng'abaserikale abaalondoola Ssebulime waaliwo okubawubisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...

Gav't etaddewo obukwakkuliz...

GAVUMENTI etegeezezza nti abasuubuzi abaagala okuddamu okusuubula ebintu ebiva n'okutwaliribwa mu mawanga g'ebweru...

Minisita w'Ebyensimbi Kasaija ne Byarugaba akulira NSSF nga boogera

Bannayuganda muve mu kwejal...

MINISITA w'ebyensimbi Matia Kasaija alabudde Bannayuganda bave mu kwejalabya batereke ssente ezisobola okubayamba...

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...