TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abtex ne Bajjo batutte omudduumizi wa poliisi Ochola mu kkooti

Abtex ne Bajjo batutte omudduumizi wa poliisi Ochola mu kkooti

Added 21st May 2019

Abtex ne Bajjo batutte omudduumizi wa poliisi ne ssaabawolereza wa gavumenti mu kkooti lwa bivvulu bya Bobi Wine.

 Abtex ku kkono. Lukwago ow'okubiri ku ddyo ne Bajjo ku ddyo mu kkooti

Abtex ku kkono. Lukwago ow'okubiri ku ddyo ne Bajjo ku ddyo mu kkooti

ABATEGESI b'ebivvulu bya Bobi Wine ebya Kyalenga Extra baagala kkooti eggyewo envumbo poliisi gye yateeka ku bivvulu byabwe obutategekebwa.

Leero Abbey Musinguzi owa Abtex Productions ne Andy Mukasa owa Bajjo Events nga bali ne Munnamateeka waabwe Loodi Meeya Erias Lukwago owa M/S Lukwago & Co Advocates bawawaabidde omudduumizi wa poliisi ne Ssaabawolereza wa Gavumenti mu kkooti enkulu mu Kampala.

Mu mpaaba yaabwe bawakanya ekya poliisi okusazaamu ebivvulu bye baali bategese n'okugaana Bobi Wine okuyimba nga bagamba byakolebwa mu bukyamu.

Bagamba nti baayingira mu ndagaano ne Bobi Wine (omubaka Robert Kyagulanyi) ya ssente

230,000,000/- okutegeka ebivvulu bya ‘Kyalenga Extra Concert' nga April 4, 2019 e Busaabala ku One Love Beach, May 3, 2019 e Lira, May 4, 2019 e Gulu ne May 5, 2019 mu Arua.

Ku ssente zino baamuwaako ekitundu nakkiriza okuyimba n'okuleete abayimbi be abalala wabula baafiirizibwa olwa poliisi okubagaana.

Bano kati baagala kkooti eggyewo envumbo poliisi gye yateeka ku bivvulu bya Bobi Wine basobole okukola era okusinziira ku Lukwago agamba etteeka erirung'amya enkungaana z'ebyobufuzi, poliisi mwe yayita okugaana ebivvulu bino terikola ku bivvulu by'abayimbi.

"Olw'okuba abantu bange bagoberezi b'amateeka, poliisi ne bwe yayita mu tteeka erirungamya enkungaana z'ebyobufuzi eritakola ku bivvulu, obukwakulizo bwonna obwabasibwako baabutuukiriza omuli: okuwandiikira poliisi, okulaga olukalala lw'abayimbi abagenda okuyimba, ebyokwerinda, ekifo we bagenda okukola n'ebirala.

Yagambye nti kyewuunyisa nti poliisi yagenda mu maaso n'okugaana ebivvulu nga kati baagala kkooti ebayambe." Lukwago bwe yagambye.

Abtex ne Bajjo era bawakanya ekya poliisi okubakwata bwe baali bagenze e Busaabala nga baagala kkooti eragire baliyirirwe olw'okufiirizibwa.

Omuwandiisi wa kkooti enkulu, Sarah Langa fayiro y'omusango guno yagisindise wa mulamuzi, Lydia Mugambe agenda okugukolako nga balindiridde lunaku.

Bano baagala gavumenti eyise ekiwandiiko bw'eba teyagala Bobi Wine addemu kuyimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...