
BYA STUART YIGA
Yategeezezza Poliisi nti bulijjo b'atera okusuubulako bbiringanya baaluddewo okumuleeta.
"Bwe nnalabye nga nninze nnyo ate nga n'obudde bugenze, kwe kusalawo ne hhenda ku luguudo lwa William, gye nafunye malaaya ambeesebeese," Richard bwe yategeezezza.
Malaaya yampaanye ebitagambika nange ne musaba tufuneyo akazigo we tuba twesanyusizaamu.
Teyandabikidde kuba muyaaye.'' Richard yannyonnyodde Poliisi nti, oluvannyuma lw'okwesanyusa, omuwala yayambadde mangu n'afuluma.
"Nze nagenze okukwata mu ngoye zange nga ssente zange emitwalo 50 siziraba.
Nawunze nzenna ne mpewuka! Nabuuzizza aba loogi oba bamumanyi ne bamwegaana.
Nabadde nkyasala entotto ku ngeri gye nnyinza okulondoolamu omuwala ne ndaba omuserikale wa kkampuni ya Securex ng'ava mu kasenge mwe twabadde n'omuwala.
Mu bukambwe, yankubye empi nga bw'ambuuza ekinguza bamalaaya." Richard yakubye omulanga nga bw'alaajana mu ddoboozi ery'ekisajja nti,"Katonda wange kigezo ki kino ky'ontaddemu?
Nnaakola ntya nze obusente bwange obw'ekinaku…Sitaani nga mubi...Sitaani...mubi nnyo eyandeese eno?"
Abantu baakuhhaanye ne bayita poliisi n'ekwata owa Securex agambibwa nti ye yeebase wansi w'ekitanda n'asika empale y'omusajja naggyamu ssente.
Kigambibwa nti akolagana ne bamalaaya ne banyaga bakasitoma baabwe. Poliisi yagguddewo fayiro ku nnamba SD:07/19/05/19, era n'eggya siteetimenti ku Richard n'omuserikale Osbert Paaro, eyakwatiddwa abayambeko mu kunoonyereza.