
Baamusisinkanye wiiki ewedde mu ofiisi ya Bugingo ku Salt Media e Lungujja mu ngeri ya kyama ne boogera ku nsonga ezitali zimu naddala ez'okutabuka ne mukyala we Teddy Naluswa Bugingo.
Abasumba baakulembeddwa akulira abalokole mu Uganda Dr. Joshua Lwere n'Omutume Alex Mitala n'abalala era nga kwabaddeko n'abaakiikiridde Teddy.
Baamuwadde obukwakkulizo bw'alina okugoberera basobole okumuyambako okuvvuunuka amayengo g'ayitamu.
Kigambibwa nti Bugingo yabeetondedde n'abategeeza nti naye ebigambo by'azze ayogera oluusi abadde alabira awo nga bifulumye.
Omusumba Lwere owa Grace Assembly Church, Kampala era akulembera National Fellowship of Born-Again Pentecostal Churches (NFBPC) in Uganda, yateegezezza Bukedde nti baasituse ne bagendayo ng'abakadde b'ekkanisa okulaba nga bakkakkanya Bugingo alekere awo okulumbagana mukyalawe mu lujjudde.
Baamulagidde ensonga aziggye mu mawulire era akomye okugenda ku ttivvi ye ne leediyo okulumbagana abantu ababeera bamwogeddeko.
Kuno Bugingo ne Teddy balina okugattako okwawula ensonga z'amaka gaabwe n'ekkanisa.
Ensisinkano gye baabaddemu gwe mutendera ogusooka ku nteeseganya ze basuubira okubeera naye okulaba ng'embeera edda mu nteeko.
Lwere yagambye nti ensisinkano eno tebaagiwadde budde bumala naye y'entandikwa okulaba ng'ebintu bitereera.
Omulundi ogwasoose baamusisinkanye ali yekka wabula omulundi oguddako ku lunaku lwe batannaba kuwa bagenda kubasisinkana nga Bugingo ne Teddy weebali.
Mitala yasinzidde mu Amerika gy'ali n'ategeeza Bukedde nti kituufu Bapaasita baasituse ne bagenda ewa Bugingo wiiki ewedde kyokka bye baateesezzaako tebannaba kutuusa ku bireeta mu mawulire newankubadde nga gaabayamba nnyo okumanya ebifa ewa Bugingo, bingi baali tebabimanyi.
"Kituufu twagenzeeyo ne twogera era tukyayogera naye kati ssiri mu ggwanga ndi mu Amerika ku mbaga ya mutabani wange, bye twateesezzaako ekiseera tekinnaba kutuuka kubifulumya mu mawulire", Mitala bwe yaggumizza.