TOP

Paasita Bujingo talabiseeko mu kkooti

Added 22nd May 2019

Paasita Bujingo talabiseeko mu kkooti

 Paasita Bugingo

Paasita Bugingo

Ku Mmande yalangiriridde nga bw'agenda ku Kkooti Enkulu ku musango gw'okuwogganira abantu ogumuvunaanibwa.

Yakunze abagoberezi okujja mu bungi ku kkooti bamuwerekera kyokka ye kennyini teyalabiseeko n'abagoberezi bazze batono ddala.

Mu kkooti omusango gw'okuwogganira abatuuze b'e Makerere ogwamuwawaabirwa Hajji Ali Serunjogi n'abalala 200 gwatandise okuwulirwa naye n'omulamuzi teyazze.

Bugingo yasindiseeyo looya we eyategerekeseeko erya Ruhinda okumukiikirira.

Abagoberezi ba Bugingo abaabadde beetegese okumuwerekerako baawuddiisiddwa bwe baakedde okweyiwa ku Kkooti Enkulu e Kampala ewulira emisango gya nnagomola kyokka nga omusango guli Nakasero mu kkooti ey'engassi.

Hajji Serunjogi yabadde akiikiriddwa looya we Luyimbazi Nalukoola era baalooya bonna olwatuuse mu ofiisi y'omulamuzi Bashaija, baalabye kiraaka we eyabawadde olunaku olulala olw'okukomawo ku kkooti (October 2, 2019) kubanga omulamuzi yabadde taliiwo

POLIISI y’e Matugga etubidde n’omwana jjajjaawe gwe yasudde ku poliisi y’e Matugga ng’agamba nti akooye muzzukulu we okumubbiranga ebintu. Joweria Nabbanja ye yaleese Abdul Hakim Mukiibi 10 (wansi), ku poliisi. Nabbanja yagambye nti okuva lwe baamusuulira Mukiibi, y’amukuzizza kuba bamumusulira muwere ate nga mutabani we yafa ng’omukyala ali lubuto. Entabwe okutabuka yavudde kukumubbira emitwalo 6 kyokka n’azeegaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...