TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enzizi 8 ku buli 10 e Mukono zirimu obucaafu-bakugu

Enzizi 8 ku buli 10 e Mukono zirimu obucaafu-bakugu

Added 22nd May 2019

Enzizi 8 ku buli 10 e Mukono zirimu obucaafu-bakugu

Wazeewo akasattiro abakugu mu by'obulamu bwe bategeezezza ng'enzizi 8 ku buli 10 ezaakebereddwa mu kibuga Mukono wakati (Mukono Central divizoni) bwe zirimu obucaafu.

Josephine Mbabazi atwala okunoonyereza ku by'obulamu mu Mukono Central divizoni ategeezezza nti obucaafu buno buvaako okulwaza abantu ebirwadde okuli omusujja gw'omubyenda (typhoid) n'ebirwadde ebirala.

Mbabazi yagambye nti kino baakizudde oluvannyuma lw'okunoonyereza okwakolebwa abakugu mu kitongole ky'eby'obulamu mu Mukono Central divizoni bwe baakebera amazzi okuva mu nzizi 20 ne basanga ng'ezizi ezisinga zirimu obuwuka.

Yagambye nti entabwe eva ku kuba nti abantu bangi bazimbye okumpi n'enzizi zino ate nga ziri mu bikko ng'abaazimba waggulu waazo ne basima zi kaabuyonjo, zivaamu obukyafu obukulukuta ne bwegatta mu mazzi ate abantu ge basena ne bakozesa n'okunywa nga n'abamu tebagafumbye.

Ye meeya wa munisipaali y'e Mukono, George Fred Kagimu yagambye nti okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa, ku buli nzizi 10 ezaakeberebwa, 8 ku zzo zirimu obuwuka ng'amazzi gaazo tegasaanidde kukozesebwa.

Yagambye nti embeera eno baagitegeeza aba National Water ne babasuubiza okubunyisa amazzi aga ttaapu mu bantu wadde nga kino kibadde tekinnatuukirira.

Dr. Simon Peter Nsingo, akulira eddwaliro lya Mukono Church of Uganda yagambye nti okumala ebbanga nga lya mwaka mulamba, babadde bafuna abalwadde abalina obulwadde bwa typhoid nga bangi nnyo nga kino bazze bakiteeka mu alipoota ze bawandiikira abakulu b'eby'obulamu ku munisipaali ne ku disitulikiti.

Dr. Nsingo yagambye nti obulwadde bwa typhoid busasaanyizibwa ssinga oli aba ng'anywedde amazzi agalimu obubi bw'abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...