TOP

Abalamuzi mu nsi za Afrika 5 basisinkanye

Added 22nd May 2019

HENRY Peter Adonyo akulira ettendekero ly’abalamuzi akubirizza abalamuzi ba Kkooti Enkulu okwenyigiranga mu misomo egiba gitegekeddwa n’omulamwa gw’okwongera okubabangula ku ngeri amateeka gye gakyuseemu.

 Peter Adonyo ng'akwasa Fatmatta Alhadi omulamuzi okuva mu Sierra Leone satifikeeti.

Peter Adonyo ng'akwasa Fatmatta Alhadi omulamuzi okuva mu Sierra Leone satifikeeti.

Okwogera bino yabadde mu kuggalawo omusomo gw'abalamuzi ogwabadde e Munyonyo nga guli ku mulamwa gw'okwongera okutumbula obwenkanya naddala mu nsala y'emisango.

Omusomo guno gwetabiddwaamu abalamuzi okuva mu nsi za Afrika ttaano okwabadde; South Sudan, Kenya, Sierra Leone, Tanzania ne Uganda.

Adonyo yagambye nti, emisomo gy'engeri ng'eno giba gigenderedde okusobozesa abalamuzi okuwaanyisiganya ebirowoozo buli omu n'ategeera enkola y'emirimu mu mawanga ag'enjawulo nga buli omu asobola okumanya obuzibu omulala bw'ayitamu mu nkola y'emirimu gye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...