TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyavuganya ku bukulembeze bw'abayizi e Makerere abuze

Eyavuganya ku bukulembeze bw'abayizi e Makerere abuze

Added 22nd May 2019

George Muzaale omutuuze w’e Jinja nga ye kitaawe wa Mukisa annyonnyola nti yafuna amawulire g’okubula kwa mutabani we Olwokutaano oluwedde nga May 17, 2019 era ng’okumala ebbanga abadde n’essuubi nti omwana we yandibeera mu mikwano gye nga waakudda essaawa yonna.

 Mukisa bw'afaanana

Mukisa bw'afaanana

BYA PROSSY NABABINGE           

Joshua Mukisa 22, omu ku baavuganya ku bukulembeze bw'abayizi e Makerere omwaka guno abuze mu ngeri etategeerekeka n'aleka  bayizi banne ne bazadde be mu kutya.

Omuyizi ono abadde asoma diguli mu mateeka mu mwaka gwe ogw'okusatu  era ng'abadde asula mu yunivasite munda mu Lumumba Hall.

George Muzaale omutuuze w'e Jinja nga ye kitaawe wa  Mukisa annyonnyola nti yafuna amawulire g'okubula kwa mutabani we Olwokutaano oluwedde nga May 17, 2019 era ng'okumala ebbanga abadde n'essuubi nti omwana we yandibeera mu mikwano gye nga waakudda essaawa yonna.

Agamba nti mutabani we abadde asula ne muyizi munne mu kasenge ke kamu era ng'ono  yabategeezezza nga bwe yakoma okulaba ku munne ekiro ky'Olwokutaano ng'ayingira mwe basula ng'olwo ye agenda kugula kyaggulo wabula nga mu kukomawo, ekisumuluzo we baakitereka w eyakisanga ng'akasenge kaabwe kasibe bulungi wabula nga Mukisa taliimu wadde ng'essimu ye yali agirese munda.

Muzaale annyonnyola nti yabadde n'essuubi okutuusa olunaku lw'eggulo mutabani we bw'atazze kukola bigezo bye.

Bano bagguddewo omusango ku poliisi y'e Makerere ku fayiro; 37/20/05/2019 era basabye yenna aliko ky'amanyi ku mayitire ga Mukisa abayambe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...