TOP

Ekibuga Nyendo kigenda kukyusibwa endabika

Added 24th May 2019

Ekibuga Nyendo kigenda kukyusibwa endabika

 Oluguudo olugenda e Kitovu ku lutikko nalwo lwakukolebwa.

Oluguudo olugenda e Kitovu ku lutikko nalwo lwakukolebwa.

 

Akabuga Nyendo mu divizoni ya Nyendo-Ssenyange mu munisipaali y'e Masaka mwe musinga okuva omusolo oguddukanya ekibuga Masaka. kyokka divizoni eno yeesinga okubeera wansi mu buweereza bw'ogigeraageranya ne divizoni endala okuli Kimaanya- Kyabakuza ne Katwe-Butego naddala enguudo eziri mu mbeera embi.

Embeera eno evuddeko abakulembeze ba divizoni eno okwemulugunyizanga abakulembera ekibuga olw'okubasuula ebbali buli mulundi.

Kyokka ekitundu ku mbalirira ya Munisipaali y'ekibuga Masaka ey'obuwumbi 24 n'ekitundu zigenda kuva mu nteekateeka ya USMID okuva mu World Bank, eyagendererwamu okusitula omutindo gw'ebibuga ebiri ku mutendera gwa Munisipaali eyayisiddwa ku lwokutaano.

zonna baazitadde ku nguudo z'omu Nyendo n'ekigendererwa eky'okukyusa endabika yaakyo. Enguudo satu eza Munisipaali ezisinga okubeera mu mbeera embi z'ezigenda okukolebwako.

kuliko oluva mu Nyendo okutuuka kulutikko e Kitovu, oluva Circular road nga luva ku Coca-cola okugenda ku katale akapya n'oluva mu Nyendo okugwa ku Mbarara Highway. Meeya wa Masaka, Godfrey Kayemba Afaayo oluvannyuma lw'okuyisa embalirira eno yagambye nti, enguudo zino z'ezigenda okusooka okukolebwako wansi w'enteekateeka eno mu divizoni.

yayongeddeko nti, enguudo ttaano ezikoleddwa okuva mu 2015 USMID lwe yajja tewali na lumu luli mu Nyendo y'ensonga lwaki basaazeewo ssente zonna baziteeke ku nguudo za Nyendo kubanga gwe mulyango gw'ekibuga.

Mu August omwaka guno enguudo za munisipaali zisuubirwa okutandikibwako ate mu September UNRA yasuubizza okutandika ku luguudo oluva ku Welcome ne luyita mu Nyendo mu Masaka okutuuka e Kijjabwemi nga luno luli wansi wa UNRA kubanga mu kiseera kino gavumenti eri mu nteekateeka yaakufuna kkampuni egenda okulukola.

Abakulembeze ba divizoni eno nga bakulembeddwaamu Ssentebe Michael Mulindwa Nakumusana baasiimye enteekateeka eno ne basaba Munisipaali esseewo omutemwa ogudda wansi ku nsimbi za Road Fund eziva mu gavumenti eya wakati okubayambako okukola n'okulabirira ku nguudo za divizoni kubanga emisolo gye baafunanga gyakendeera.

Olw'okwagala okugonjoola Oluguudo olugenda e Kitovu ku lutikko nalwo lwakukolebwa. ekizibu kino, mu mbalirira ya divizoni nabo bongeddeko ku ssente z'okugula n'okulabirira enguudo okuva ku bukadde 60 mu 2018/2019 okudda ku 92 mu mwaka guno.

Bagenda kussa essira ne mu kugogola emikutu egitambuza amazzi okugakugira okuyingira ku nguudo ezigenda okukolebwa okusobola okuziwangaaza.

Kaweefube w'okukyusa Nyendo aliko n'enteekateeka y'okuzimba enkulungo ku Welcome ng'egenda kuzimbibwa mu kifaananyi ky'ettooke, emmwaanyi n'amazzi okuggyayo ekifaananyi ky'emirimu egisinga okukolebwa mu Buddu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...