
Musa Kavuma ne Mesach Ssemakula abategese ekivvulu ekyatuumiddwa Bwagamba
OMUTEGESI w'ebivvulu, Hajji Musa Kavuma owa KT Events agambye nti oluyimba lwa Mesach Ssemakula olwa ‘‘Bw'agamba'' lumuzzaamu essuubi ne yeeyongera okukola.
Agamba nti abantu bangi batandikira ku zero kyokka Katonda bw'abakwatirako bakola ssente ne bagaggawala okutuukiriza ebigambo ebiri mu luyimba luno nti, ‘‘Katonda bw'agamba nti onooba, teri agamba nti toobe, bw'agamba nti onoogaggawala teri agamba nti toogaggawale, bwagamba nti onoozaala teri agamba nti toozaale, bw'agamba nti onootuuka teri agamba nti tootuuke''.
Kavuma yagambye nti engeri Mesach gyakolamu emirimu gye kyamuwadde amaanyi okukola naye okulaba ng'ekivvulu kye ‘‘Bw'agamba Experience My Journey Episode 2'' kibeera kyamulembe. Ate ne Ssaabasajja ke yasiimye okubeerayo, ojja kutuwulira. Ekivvulu kino kigenda kubeera ku Hotel Africana nga June 14, 2019.
Okuyingira 100,000/-, 200,000/- ne 2,000,000/- emmeeza. Ate Mesach Ssemakula eyasangiddwa ku Papas Spot e Makindye ng'awawula eddoboozi yategeezezza nti abawagizi be agenda kubakubira omuziki bakkirize kubanga kyakola akirinamu obumanyirivu ate okuyimba gwe mulimu gwokka gw'amanyi. Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde.