TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enkuba esudde ekikomera ky'omugagga n'ekitta abantu 8!

Enkuba esudde ekikomera ky'omugagga n'ekitta abantu 8!

Added 27th May 2019

Enkuba esudde ekikomera ky'omugagga n'ekitta abantu 8!

OMUGAGGA yazimba ekikomera kya nkokoto n'emitayimbwa. Enkuba yakisudde ne kibuutikira enju ya muliraanwa, famire yonna n'efi iramu okuggyako omuwala ali alubuto olukulu. Bino okubaawo nnyinimu Hajji Adinadi Kalyango 60, yabadde yakedde dda ku muzikiti okusaala esswala ya "Subuhi". Ekikangabwa kyagudde Bunnamwaya mu Lubowa Cell, Makindye Ssaabagabo mu nnamutikkwa w'enkuba eyafukumuse ku maliiri g'eggulo.

Ku muliraano e Namasaba nayo waafuddeyo basatu okuli omukyala Emmy Namaganda eyafudde n'omwana we. E Bunamwaya-Lubowa, Sarah Mugerwa yazimba ekikomera okwetoloola enju ye eri mu lusozi. Oludda olwagudde, yakizimba kuva mu ttaka ng'akozesa amayinja amanene (hard core), enkokoto n'emitayimbwa.

Obuwanvu kiriko ffuuti 30. Amazzi g'enkuba gaakyabizza ne kigwiira enju ya Hajji Kalyango. Mukazi we Aisha Nassali 50, yafi iriddemu. Mutabani we Huzaifah Muzzanganda 15, naye afi iriddewo.

Abalala bazzukulu- Promise Kanyike 7, Prosper Kanyike 5 ne Humairah Nalutaaya ow'omwaka ogumu n'ekitundu. Mu nju mwabaddemu omuwala owoolubuto olukulu Halima Nakalyango 23 eyasimattuse. Era ono y'azaala Nalutaaya eyafudde.

"Nnawulidde amazzi aganjiikira nga nneebase mu ntebe. Nnawawamuse ne mbuuka okufuluma ebweru, ng'enju ebuutikiddwa ekikomera. Maama ne bannange nga sibalaba.

Nnasoose kulowooza nti bandese mu nju, okutuusa lwe nnawulidde eddoboozi lya maama ng'alaajana nti mutuyambe tufa", bwe yategeezezza ng'amaziga gamuyitamu. Hajji Kalyango: Nnalese mukazi wange asaala nze ne ng'enda ku muzigiti.

Enkuba yatandise okutonnya nga ndi ku muzikiti. Eno essimu gye yansanze entegeeza nti ekikomera kigwiiridde enju. Bino we bigwiiriddewo nga nnannyini kikomera Sarah Mugerwa yaakakubwa puleesa.

Wadde yabaddeyo mu nju kyokka kyategeezeddwa nti talina kye yategedde ku byabadde bigenda mu maaso. Abatuuze okuli ssentebe wa LC1 owa Bunamwaya-Lubowa Cell, Patrick Matovu Musigire baayanguye okutuusa ne babakana n'okusitula amayinja n'okusika emitayimbwa ebyakubye enju.

Poliisi ezikiriza omuliro nayo yazze n'ekola n'abatuuze okuggyayo emirambo. Baasoose kuggyayo emirambo ena egyatwaliddwa e Mulago mu ambyulensi. Omulambo gwa Muzzanganda gwazuuliddwa luvannyuma ng'essaawa zigenda mu 8.00 ez'olweggulo. Ogusenge gw'enkokoto n'emitayimbwa gwamukubye amaze okufuluma era yenna gwamubetense.

Matovu Musigire yagambye nti nnannyini kikomera amaze mu kitundu emyaka 20. Yasooka kukolera mu ofi isi ya Katikkiro wa Uganda, kyokka kati abadde musuubuzi okutuusa puleesa lwe yamukubye. Omumyuka w'omwogezi wa poliisi, Luke Owesigire yagambye nti okufa kw'abantu mu nkuba bakatutte ng'akabenje, tebalina gwe bakunenyeza.

Aisha Nassali ne mutabani we Muzzanganda ne Nalutaaya baaziikiddwa akawungeezi k'eggulo mu limbo e Nkoowe. Abazzukulu Prosper ne Promise Kanyike basuubirwa kuziikibwa leero.

Ekitundu kino kyonna okuva e Nankinga-Lufuka okutuuka mu lutobazzi oluli ekyemmanga wa kkampuni ya Roofi ng ku lw'e Ntebe kyonna kyabuutikiddwa amazzi. Oludda lw'e Zana- Kirimanyaga nakyo kyakoseddwa nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....