TOP

Owa LC e Kawempe bamwokedde mu nju

Added 27th May 2019

Owa LC e Kawempe bamwokedde mu nju

ABANTU abettima bayingiridde ow'akakiiko ka LCI e Kawempe ne bayiwa amafuta ga petulooli mu nju. Agenze okudda engulu ng'omuliro gumutuuseeko; kati ataawa!

Rashid Bulime, omuwanika wa Kirokole zooni mu Kawempe, abazigu abatannaba kutegeerekeka baamwokedde mu nnyumba mu kiro ekyakeesezza Olwokuna n'addusibwa mu ddwaaliro e Kiruddu gye yaweereddwa ekitanda ng'ali mu mbeera mbi.

Adam Kabuusu, taata wa Bulime yagambye nti abaakoze kino balabika baludde nga beetegekera obuzigu buno. Kuba bazze ne baggulawo eddirisa ly'ennyumba ery'omu ddiiro ne bayiwa petulooli n'akulukuta okutuukira ddala mu kisenge. Oluvannyuma baakoleezezza akabiriiti ne baleka ng'omuliro gulanda.

Bulime eyabadde mu tulo yagenze okusisimuka ng'omuliro gumaze okumutuukako n'amenya emitayimbwa gy'eddirisa gy'ekisenge mwe yeenyigirizza n'agwa ebweru kyokka ng'omuliro gumaze okumwokya.

Shamim Nabankema, maama wa Bulime yagambye nti, "twabadde twakamala okulya ddaaku ku ssaawa 9:00 ez'ekiro, muwala wange Sharifah Nanyange gwe mbeera naye n'antegeeza nga bwe bamukubidde essimu nga bamutegeeza nti Bulime bamwokedde mu nnyumba ebigambo ne bimbula..." Yagambye nti baliraanwa ba Bulime be baamudduukiridde ne bamussa ku bodaboda ne bamutwala ku ddwaaliro lya Kyaddondo e Kawempe ne bamugoba.

Baamututte ku Norvik ku Bombo Road gye baasoose okufunira obujjanjabi obusookerwako oluvannyuma ne bamuteeka mu ambyulensi eyamututte e Kiruddu. Abalala baasigadde bazikiza omuliro kyokka ebintu byonna byaweddewo.

Bulime mu nnyumba olumu abadde asulamu ne mutabani we kyokka ku luno yabaddemu yekka. Joseph Kibuga, ssentebe wa LCI yategeezezza nti Herbert Ddamba akulira ebyokwerinda mu kitundu yamukubidde essimu ku ssaawa nga 9:00 ekiro n'amutegeeza ebibaddewo. "Twagenze ku poliisi ya Kakungulu ne tuggulawo omusango ku fayiro nnamba SD: 16/23/05/2019.

Poliisi yazudde akadomola ka petulooli okumpi n'amaka ga Bulime. Abakulembeze okuli Sulaiman Kidandala, Fred Nyanzi ne Ying. Mizar Katumba baalambudde Bulime ku kitanda e Kiruddu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...