TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi angobaganya mu nju gye neezimbira

Omukazi angobaganya mu nju gye neezimbira

Added 27th May 2019

NZE Moses Musungu, 45 ndi mutuuze w’e Mutungo mu munisipaali y’e Nakawa. Nawasa mukyala wange nga tukyali bavubuka bato era tweyagala okukamala kuba twali tumaliridde n’okubeera ffembi okutuusa okufa.

Ebiseera bye nafuniramu mukyala wange ono, nali nkolera mu kibuga Mbale. Wadde nnali muto, nafuba okukola nsobole okufuna kye ndeka ku mmeeza.

Mu kwagalana kuno twafuniramu abaana basatu era bwetutyo ne tukola famire yaffe ennungi ate eyeeyagaza.

Nga wayise ebbanga, mukyala wange yatandika mpola okukyuka mu mpisa nga buli lwe nkomawo awaka annyombesa kyokka nga nali ndeekawo buli kyetaagisa awaka.

Twayomba okumala emyezi egiwera naye mu kiro kimu twafuna obutakkaanya era yakeera kugenda ku poliisi n'andoopa nga bwe mukubye era nalagira abaserikale bansibe. Bano okunkwata bansanga ku mulimu ne bantwala.

Bakozi bannange be baategeeza mukama wange ne muganda wange era ne bajja ku poliisi ne banzigyayo.

Mukazi wange yakakasa Mukama wange nti ndi musajja mubbi era bw'anaansigaza ku mulimu kkampuni ye ntuuse okugisuula.

Ono naye yangoba kw'olwo. Mu biseera ebyo kkampuni yali yampa ennyumba era waayitawo ennaku ntono ne baginzigyako, nalina okuyiiya okudda mu bupangisa.

Twasengukira mu kibuga Kampala ne ntadika obwabbulooka nga bwe ngezaako okufuna ku ssente nsobole okuyimirizawo famire yange naye era mu biseera ebyo mukyala wange yali tansuza bulungi.

Nasobola okufuna ssente ne nzimba akayumba kange tuwone obupangisa nga ndowooza nti mukyala wange anaasanyuka naye ne bwe twayingira mu maka gaffe amapya yasigala akyanvuma n'okunswaza mu maaso g'abaana baffe.

Kati angoba mu nnyumba gye nazimba, agamba nti muviire ηηende mu kyalo sikyalina makulu eri famire naye saagala kusuulawo baana bange kubanga mbaagala okukamala. Simanyi kyakukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...