TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukuumi w'omubaka Nantume akubye omuntu essasi erimusse

Omukuumi w'omubaka Nantume akubye omuntu essasi erimusse

Added 27th May 2019

Omwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Ssezibwa, Hellen Butoto ategeezezza nti omugenzi ye Sadiq Kizito omutuuze ku mwalo gw’e Kiziba sso ng’ate omuserikale eyamusse ye Martin Beema. Ekikangabwa kino kyaguddewo ku Ssande ku makya.

 Nantume ng’ayogera mu bamu ku bantu b’e Buvuma mu kwebuuza ku ky’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti.

Nantume ng’ayogera mu bamu ku bantu b’e Buvuma mu kwebuuza ku ky’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti.

Entiisa egudde mu bantu ku kizinga ky'e Kiziba mu ggombolola y'e Bugaya mu disitulikiti y'e Buvuma omukuumi w'omubaka wa palamenti omukyala akiikirira ebizinga, Jennifer Nantume Egunyu bw'akubye omuntu essasi erimuttiddewo.

Omwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Ssezibwa, Hellen Butoto ategeezezza nti omugenzi ye Sadiq Kizito omutuuze ku mwalo gw'e Kiziba sso ng'ate omuserikale eyamusse ye Martin Beema. Ekikangabwa kino kyaguddewo ku Ssande ku makya.

Butoto yagambye nti Nantume ng'ali mu lyato n'abantu be okuli n'omukuumi baatuuse ku mwalo gw'e Kiziba ku ssaawa nga 5:00 ez'oku makya abantu ne bagaana eryato lye okugoba nga bawakanya eky'okuba nga yabadde amaze ebbanga ddene nga tegenda gye bali.

Oluvannyuma lw'okugoba, Butoto yagambye nti bano baatandise okuggya ebintu bye baabadde bagenda okukozesa mu lyato okuli n'emizindaalo wakati mu bantu okwegugunga.

"Mu kiseera kino, owapoliisi yaggyeyo pisito n'asooka okukuba essasi mu bbanga okwagala okugumbulula abantu ne bagenda mu maaso n'okwagala okumukungaanirako awo we yakubidde Kizito essasi mu kamwa eryamuttiddewo," Butoto bwe yannyonnyodde.

Yagambye nti olw'okwagala okwetaasa ku bantu, Nantume n'abantu be baalinnye eryato lyabwe ne badduka nga n'okutuusa olwaleero tebannabawuliza.

Yategeezezza nti omukuumi ono waakukwatibwa avunaanibwe ogw'okutta omuntu ng'okunoonyereza kuwedde.

Butoto yagambye nti olw'embeera y'ebizinga, omulambo omusawo yagukeberedde mu kifo kyennyini we bamuttidde n'emala n'egukwasa ab'enganda b'omugenzi abaagututte okuguziika ku kyalo Mpanga mu disitulikiti y'e Namayingo.

Yagambye nti Nantume yatuuka mu bizinga by'e Buvuma ku Lwomukaaga okulambula abantu kyokka ng'ekizibu kino kyaguddewo ku Ssande.

Bernard Kasimire owa BMU ku mwalo gw'e Mubaale eyabaddewo ng'obuzibu buno bugwawo yagambye nti omuserikale ono yabadde tali mu yunifoomu ng'era teri yabadde amanyi nti oba musirikale nga baamulabye kuggyayo mmundu na kukuba ssasi eryamaze ne litta munnaabwe.

Kasimire yagambye nti omusirikale bwe yamaze okutta omuntu n'agenda mu lyato n'afuna emmundu ennene eya A47 n'anona omubaka ne beemulula ne bagenda.

Yategeezezza nti abantu Nantume baamuvunaana okuwagira ekiteeso eky'okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti nga n'okubeebuuzaako tabeebuuzizzaako.

Kaweefube wa Bukedde okwogerako ne Nantume ku Ssande ne ku Mmande ku makya yagudde butaka olw'okumukubira ku ssimu ye ey'omu ngalo nga tagikwata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tumukunde mu lukungaana.

Be baagoba ku ttaka ly'ebib...

MAJ. Gen. Henry Tumukunde asuubizza okuliyirira abantu bonna abaagobwa ku ttaka lye bibira n'okukyusa ebyenjigiriza...

Amuriat ng'ali e Terego.

Poliisi etaasizza Amuriat o...

PATRICK Oboi Amuriat, akwatidde FDC bendera mu kuvuganya ku Bwapulezidenti, amaze essaawa nnamba ng'asobeddwa oluvannyuma...

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...