
UGANDA ekwasizza Rwanda omulambo gwa munnansi wayo (ow'e Rwanda) eyattiddwa ku ttaka lya Uganda ku Lwokutaano.
Peter Nyengye yattiddwa amagye ga Rwanda agaamulumbe ku ttaka lya Uganda mu katawuni k'e Hamisavu mu ggombolola y'e Kamwezi mu disitulikiti y'e Rukiga nga gamulumirizza okuba nga yabadde yeenyigira mu kukusa ebyamaguzi.
Omugenzi yattiddwa ne Munnayuganda Alex Nyesiga agambibwa nti yabadde agezaako okumutawulula ku magye.
Uganda yawandiikidde Rwanda nga yeemulugunya ku kikolwa kino kyokka ne Rwanda ne yeegaana nti omusuubuzi teyattiddwa ku ttaka lya Uganda yafiiridde waabwe Rwanda.
Omukolo gw'okuwaayo omulambo gwabaddeko bambasada b'amawanga g'ebweru ababeera mu Uganda munaana.
Omukolo gwabaddewo ku ssaawa 9:00 ez'olweggulo era omulambo gwakwasiddwa meeya w'e Nyagatare mu Rwanda, David Mushabe Claudian.
Kigambibwa nti Nyengye yabadde avuga pikpiki eriko ebyamaguzi ng'agezaako okuyingira ne yekanga amagye g'ewabwe n'akomawo mu Uganda.
Wabula nti gaamugoberedde ku ttaka lya Uganda kwe yabadde ali ne gamukuba amasasi agaamutiddewo ne Munnayuganda eyabadde agezaako okuyingira mu nsonga naye teyalutonze.