TOP

Bukedde Tv ereese empaka z'ebitone.

Added 28th May 2019

Bukedde Tv ekuleetedde empaka z’okwolesa ebitone owangule ssente.

 okuva ku kkono; Chiko

okuva ku kkono; Chiko

MU kaweefube w'okuyamba okutumbula ebitone n'okuddiza ku balabi baayo, Bukedde TV1 ereese empaka ezituumiddwa ‘Yolesa ekitone' ezigendereddwamu okuwa Bannayuganda okwolesa ebitone ebyenjawulo bye balina ate bawangule ne ssente.

Ng'ayanjula enteekateeka eno mu lukung'aana lwa lwa bannamawulire olwatudde eggulo ku Hotel Africa, Moses Kasasa avunaanyizibwa ku biweerezebwa ku mpewo za Bukedde TV1 yategeezezza nti kino ekikoleddwa kigenda okuyamba Bannayuganda okufuna omukisa okulaga ebitone bye balina n'okubikulaakulanya .

"Buli muntu omukulu n'omuto akkirizibwa okuvuganya mu mpaka zino ate okuzeetabamu kikumala okufuuka omuwanguzi ne bw'oba tofunye ssente era nkubiriza Bannayuganda abalina buli kika ky'ebitone okuzijjumbira ate beekuumire ku Bukedde TV okulaba ebinaaba bikwatiddwa nga biragibwa. 

 ower an nga asitudde asembe owa ukedde Power Man nga asitudde Masembe owa Bukedde

Tugenda kutalaaga eggwanga nga tutandikira, Jinja nga June 8, 2019, Masaka - June 15, 2019, Gulu- June 22,2019 ne Kampala June 29-30, 2019."

Omuwanguzi waakufuna obukadde 10. Kenneth Oduka avunaanyizibwa ku kutumbula Bukedde TV yategeezezza nti empaka zino ziwagiddwa aba Harris International abakukolera eky'okunywa kya Funtime so nga aba Kunta Production be bajja okukwata ebinaafulumizibwa. Nga banoonya abalina ebitone, abantu bataano be bagenda okusunsulwamu okuva e Jinja, Masaka ne Gulu ate mu Kampala abantu 15.

 omuwala eyeeyita frican ift nga yeewese omubiri omuwala eyeeyita African Gift nga yeewese omubiri.

Bano oluvannyuma baakuvuganya balondeko abasatu abanaaba basinze nga ku bano omuwanguzi waakufuna obukadde 10, owookubiri obukadde 4 ate owookusatu akakadde kamu.

ABASAZI B'EMPAKA BAKUNZE ABANTU OKUJJUMBIRA EMPAKA

Mu mbeera ey'okulaba nti empaka zino zitambulira ddala bulungi. Balonze munnakatemba Alex Mukulu ne Iryn Namubiru okubeera abamu ku basazi b'empaka zino ate bakazannyirizi Madrat ne Chiko be bagenda okubeera abanjuzi b'empaka zino.

abobugologosi nabbo babaddeyoab'obugologosi nabbo babaddeyo

Ng'ayogera ku mpaka zino, Namubiru yasoose kusiima Bukedde TV okuvaayo n'enteekateeka eno era yakubirizza abantu abalina ebitone okukozesa omukisa guno okubiraga kubanga Bukedde erabibwa ensi yonna.

Madrat ne Chiko baategezezza nti omuntu anaalabikira kuBukedde ng'ayolesa ekitone alina emikisa mungi okufuna abamuteekamu ssente. Bino bijja kulagibwa ku Bukedde TV 1 buli lunaku okuva ku ssaawa 12.45 akawungeezi okutuuka ku 1.00 ate ku Ssande okuva ku ssaawa 2.00 ez'ekiro okutuuka ku 3.00.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...