TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Emboozi Polof. Nsibambi gye yasemba okunyumya ne Bukedde ku katyaga k'okulumba Olubiri n'engeri gye baakwekamu Ssekabaka Muteesa awaka

Emboozi Polof. Nsibambi gye yasemba okunyumya ne Bukedde ku katyaga k'okulumba Olubiri n'engeri gye baakwekamu Ssekabaka Muteesa awaka

Added 28th May 2019

Yiino emboozi Polof. Nsimbambi gye yasemba okunyumya ne Bukedde mu 2016

 Omugenzi Polof. Apollo Nsibambi

Omugenzi Polof. Apollo Nsibambi

Yiino emboozi Polof. Nsimbambi gye yasemba okunyumya ne Bukedde mu 2016. Nsibambi afiiridde mu makaage e Mmengo akawungeezi ka leero ku Lwokubiri. 

......................................................................................................................

Emboozi y'akafubo eno Polof. Apollo Nsibambi  yaginyumiza omusasi waffe Dickson Kulumba n'amulambulira kulumbibwa kw'Olubiri lwa Kabaka e Mmengo nga bwe yagimunyumya kigambo ku kigambo;

Enjega eno we yagwirawo nali nnaakakomawo okuva mu Amerika, tuba tuli awo nga Kojjaffe Musoke aleeta Ssabasajja awaka olwo ng'olubiri balukubye.

Kitange yamanya nti awo ali mu kifo kye batajja kusuubiriza nti ajja kubeeramu. Nga bwemumanyi…Kitange namusabira . Ate okugulu kwali kumuluma, Mmange n'amusiiga eddagala.  Naye waliyo abantu abajja awaka nga tubasubiriza okubeera bambega kale Ssabasajja kye tuva tumutwala ewa Can. Kigozi muliranwa waffe ne tumukweka eyo.  Naye yalina emmundu ne mugamba nti abantu wadde tebamanyi nti gwe Ssabasajja oyinza okubaleetera okukulumba, bwe tutyo ne tugimuggyako, Kamaanyi n'agitwala. Enkeera ennyo mutabani wa Kamaanyi oyo ne banne ne bamutwala okumuddusa okuva mu ggwanga.

Ekikolwa ekya Obote okuggyawo Obwakabaka n'okwagala okutta Ssabasajja Kabaka kyali kibi nnyo era ebyavaamu bigazi nnyo kubanga yali alina kwesigama ku magye okufuga ensi eno era nago ne gamanya nti yeesigamye ku ggo okufuga ensi eno, ne gamuggyako. Era mulaba nti Uganda eyafugibwa Amin emitawaana gyasukka; okutta abantu, ebintu okubula, eddembe okubula, abantu okuwang'anguka.

Uganda yonna n'eddaagana ng'efugibwa bano abamaggye okutuuusa Museveni lwe yalwana olutalo olw'omu nsiko ne baggyako abasajja  bano era ly'eddembe lye tufunye, lye twagala okulaba nga ligundiira.

Oluvannyuma lw'ekikolwa ekyo, ab'amaggye baafuuka bazibu ng'omusanga n'akugamba nti leeta ssente, galamira n'ebintu ebirala eby'effujjo kyokka embeera eno erongoose wadde waliwo ensobi ezikoleddwa eziteebeereka.

Oluvannyuma twamanya nti Kabaka atuuse bulungi era ne kitusanyusa, twamugenderera nnyo okulaba ng'atuuka. Twalinanga engeri yaffe etumanyisa ebimufaako era naffe twamusondera ku ssente ezaamubeezangawo.

 Polof Apollo Nsimbambi ng'anyumya n'omusasi waffe

Twanyigibwa nnyo bwe yakisa omukono era twamusabira nnyo kuba twalaba Obote bwe yakozesa amagye okunyigiriza Buganda ne kibeeranga ekintu ekikwata ku Buganda yokka naye kyasaasanira Uganda kubanga ekyavaamu be bantu nga Amin okukwata obuyinza ne bafuga ensi eno mu ngeri embi ennyo omuli okutta abantu ne banywa ku musaayi okwegema n'olaba engeri gye twafugibwamu abantu abalinga ensolo.

Effugabbi liyingirira abantu, abantu battibwa. Abantu batandika n'okutta bannaabwe nga ne bwe babeera bafunye obutakkaanya ng'okutta tebakulabamu kizibu  ate n'ebintu byabula nnyo nga biva Kenya.

OKULUMBIBWA KW'OLUBIRI KWAKYUSA KUTYA EBY'ENFUNA Y'ABANTU BA BUGANDA?

Abantu byayonoonekebwa nnyo ebyenfuna kuba waayita akabanga katono, Amin Abayindi n'abagoba. Kwe kugamba ne tubeera mu buzito nga ssabbuuni, sukaali nga biva Kenya. Abantu baayingiramu omuze gw'okwagala amagendo mu kifo ky'okukola ssente mu ngeri entuufu.

Ensimbi yatandika okugwa ebbeeyi, buli kintu kyagenda kyonooneka mpola kyokka kati bigenze bikolebwako.

Abantu baggyamu obugayaavu, okulima n'okulunda ne kukendeera kubanga nze ndi mulimi era nnunda mbatwala ku faamu n'embalaga ennima ennungi kyokka abamu si bangu. Emmere yavanga wano naye kati biva Mbarara. Waliwo ebirime ng'emmwanyi, ppamba byalimwanga n'amaanyi kyokka kati si bwe kiri.

KIKI EKIRINA OKUKOLEBWA ABANTU BA BUGANDA?

 atikkiro ngaliko byagamba olof pollo sibambi Katikkiro ng'aliko by'agamba Polof. Apollo Nsibambi.

 

Okwenyigira mu by'obufuzi by'eggwanga lyonna naffe netubeera mu by'obufuzi bya Uganda naffe netukulembera.

Okwenyigira mu maggye g'eggwanga lino netutagasula muguluka kubanga  makulu nnyo nga gegavaamu okunnunula eggwanga lino. Okugatya kikyamu kubanga bulifamire yandibadde evaamu omuntu nayingira amaggye. Abantu bonna ab'omu Uganda bandibadde bayingira mu maggye gabeere nga gali ga ggwanga, ng'amaggye galinaabantu baagoabamanyi era neribeera nga likola ebintu kyenkanyi.

Obukulembeze bw'Obwakabaka busanye okwenyigira mu nkulakulana kubanga nkulu nnyo okulaba nga buli omu alina kyakola ekireeta ssente. Buli muntu alina ettaka ng'alikozesa kati nga nze nnina faamu y'amata e Buloba,bwenawummula byenkola. Tolaba Aga Khan ekimuwadde ettuttumu kwekufa ku nkulakulana n'olwekyo mu kino nebaza, Katikkiro Charles Peter Mayiga olw'okuleeta ettofaali omuvudde ensimbi ezizimbye ebizimbe nga Masengere, Obwakabaka mwebufuna ensimbi z'obupangisa.

Abantu basanye okukyusa eneeyisa yaabwe mu nkola y'emirimu naddala okukuuma ekiseera kubanga kino ky'ekimu ku bizibu ebiri mu Uganda. Okukuuma ebiseera kikulu kubanga bwobeera olina gyolaga olina okweteekateeka n'otuukayo mu budde. Teri nsi eyakula ezanyisa ebiseera. Nze nnina emikolo gyesigendako nga maanyi abantu bajja kukeerewa nga bwolaba okwanjula. Ate n'obutonoona biseera kubanga abantu babeerako gyebalaga nebakola ebirala.

Enkolagana ne gavumenti eyawakati nkulu ddala kubanga ebayamba okukola ebintu byammwe nga tewali abatataganya.

Akatale k'ebintu ebimu bwekaggwa, abantu babivaako nebabita. N'olwekyo nga betaaga okuyambibwako. Bwebabeera n'obutale byebakola bivaamu ensa. Abantu basobola okuweebwa amagezi okukola emirimu egibeerana; nalunda n'okulima.Okugeza nze mu bulunzi nnina abantu abajja nebakima amata ku faamu wadde ategavumenti yenyinni yeyalietuletedde obuzibu okugaana abatukimako amata n'olwekyo nekibeera nti mu gavumenti wabeerayo abawa ebirowoozo ebibi.Nze ng'omuwabuzi wa Pulezidenti namuwa amagezi ku nsonga eno nti okukima kw'amata ku faamu, tekirimu buzibu bwonna.

Abavubaka balina n'okukola emirimu ku byalo nga siraba nsonga lwaki tufuna abakozi okuva mu mawanga amalala nga bbo webali. Balina okukola n'emikono gyabwe n'olwekyo balina okulambikibwa okukolera mu byalo byabwe ate n'okuyambibwako okunoonya obutale bweebyo byebakola.

Buli kintu kyakola afube okulaba ng'ayamba ne munne okuvaayo-omwoyo ogwo gujja kutuyamba okutambulira awamu.

MU MYAKA 10 BUGANDA OGYAGALAWA?

Buganda erina ebintu bingi okuli ettaka nga yandirikozeseza okuzimba ebizimbe n'efuna ssente neyongera okugaggawala ateneeyogera okusomesa abantu baayo. Ssabasajja Kabaka abadde musale mu nsonga eno n'olwekyo buli omu ateekwa okwetikka obuvunanyizibwa buno.

Essira lirina era okuteekebwa ku kukuuma obutonde bw'ensi,abantu nga basimba emiti egy'enjawulo kuba nange kino nkikola nasimba emiti gya kalitunsi mingi ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...