TOP

Omusuubuzi alojja bweyasimattuse abatujju

Added 29th May 2019

Omusuubuzi alojja bweyasimattuse abatujju

 Magala n’ebisago.

Magala n’ebisago.

AKULIRA abasuubuzi b'ebyennyanja e Busega attottodde engeri gye yawambiddwaamu ne bamusiba ku mmotoka ne bamukulula ku koolaasi ne bamusuula ku kkubo nga balowooza bamusse. Francis Magala 42, yayise ku mugo gwa ntaana, yenna omubiri gujjudde ebisago okuva ku magulu okutuuka ku mutwe.

Omugongo n'olubuto kuliko amabwa agaleenya. Abasinga bwe bamubuuza abagamba nti, yafuna akabenje e Iganga kyokka eggulo, yategeezezza Bukedde nti, ekituufu ekyamutuukako ateebereza kiteebereze. Agamba nti, omulimu gwe musuubuzi wa byennyanja mu katale e Busega era ye ssentebe waako.

Nga May 8, 2019, omupangisa we, Asuma Mutamba yamusomera ddiiru ensava ey'omuntu w'e Jinja asobola okumusuubuza ebyennyanja mu bungi ate ku bbeeyi layisi. Yagambye nti, yasimbula e Kampala ku ssaawa nga 6:00 ez'emisana ng'ali mu mmotoka kika kya Canter Boxbody nnamba UBB 687E. Yayitira ku mwalo bulijjo w'asuubula ebyennyanja n'asooka asasula n'aleka nga batikka.

Agamba nti, yakubira Mutamba amubuulire we baali bagenda okusisinkana omuntu gwe yali amugambye okumusuubuza ebyennyanja n'amugamba nti, alinnye abasange e Iganga ku Kaliro Road. Ng'atuuse e Iganga, Mutamba yamutwala okusisinkana omukayala gwe baamutegeeza nti ye Maama Sauya alina amaato n'emmotoka z'ebyennyanja e Iganga. Bamutwala mu muzigo n'ayogera ne maama Sauya era n'amugamba nti, yabadde amutwala ku mwalo awali abyennyanja.

Nga bamaze okwogera, yamubuuzizza oba yeetaaga ekyokunywa n'asaba amazzi. Yaganywedde katukutu n'agamalamu n'ababuuza oba waliwo n'ekyokulya kubanga enjala emutta. Agamba baamuleetera chips n'enkoko wabula olwali okubirya, we yakoma okutegeera.

YADDA ENGULU NG'ALI MU DDWAALIRO E JINJA Yagambye nti, okuva ku ssaawa 11:30 ez'akawungeezi okutuuka ku makya nga May 9, 2019, yali tamanyi bigenda mu maaso ku nsi. Yagambye nti, okudda engulu ng'ali mu ddwaaliro e Jinja alaba yenna ajjudde ebiwundu bwe yabuuza abasawo baamugambye nti, yali agudde ku kabenje.

"Nze sirina mmotoka yonna gye nalinnya, saalinnya bodaboda n'omubiri gwange ebisago bye nnafuna si bya kabenje kaabulijjo", Magala bwe yategeezezza. Yagambye nti, yali atandise okutegeera obulungi ne bamusaba ennamba z'essimu n'aziwaayo ne bakubira mukyala we Nnaalongo Annette Namugaba.

Yalina ne ssente mu nsawo, essimu ye ennene gy'abadde akolerako bizinensi wabula yagenda okudda engulu mu ddwaaliro nga talina ky'alabako. Nga May 9, 2019, mukyala we ng'ali n'abooluganda abalala, baamuggye mu ddwaaliro e Jinja ne bamutwala e Lubaga gye bamujjanjabidde n'okutuusa kati.

EMBEERA YA BUNKENKE Namugaba yagambye nti, embeera gye bayitamu ya bunkenke nnyo, waliwo abantu ababakubira amasimu nga babatiisatiisa okuva bba lwe yafuna ebizibu.

Yagambye nti, bwe baabadde baakamutwala e Lubaga, waliwo omusajja eyakubye essimu ng'agamba nti ye musawo wa kinnansi e Iganga era amanyi ekyatuuse ku bba n'abakimutuusizaako. Yagambye nti, omusajja eyamukubidde essimu yamugambye nti muliraanwa waabwe gwe bagugulana naye ku ttaka ye yabapangisizza era yabadde abaguze bamutte wabula bbo baabadde tebasobola kumutta.

Agamba nti, omusajja ataamugambye mannya ge yamugambye nti, baabadde bamuwadde ebiragiro waakiri amusuule eddalu era n'amugamba agambe bba (Magala) yeefuule omulalu kubanga baabadde balina ssente ze baagala ku muntu eyabaguze okukola omulimu, bw'akimanya nti tebaagukoze, tajja kubasasula.

Yagambye nti, omusajja yamugambye nti, bba bw'aba ayagala okutegeera ekyamutuseeko, alina okwesitula agende amusisinkane maaso ku maaso. Agamba bba yagenzeeyo kyokka bwe yatuuse e Jinja, yayitiddeko ku poliisi afune abaserikale. Omusajja yamukubidde essimu n'amugamba nti, bba amulaba ali ku poliisi ate teyamulagidde kugenda na poliisi.

Agamba nti, omusajja yamulagiridde omuntu eyali n'abaamutusizzaako obuzibu abeera ku lidda e Kaliro n'amuwa n'ennamba y'essimu gy'alina okukubako. Magala yagambye nti, bwe yakitegedde nti, ebyamutuseeko byabadde bipange, yagenze ku poliisi e Jinja n'aggulawo omusango ku fayiro SD: 72/21/05/2019 wabula poliisi temuyambye era asaba ebitongole by'ebyokwerinda ebirala bimuyambe.

OYO OMUSAJJA ALINA EBIZIBU BYE - GWE BALUMIRIZA

Magala bw'aba ayogera, alumiriza muliraanwa we, Abbas Lukwago gwe bagugulana naye ku ttaka. Lukwago bwe yatuukiriddwa ku ssimu yagambye nti, Magala ebyamutuseeko amanyi lwaki byamutuseeko aleme kubimusibako.

Yagambye nti, Magala alina emisango ebiri ogumu gwa kusaalimbira mu ttaka eritali lirye ogumuvunaanibwa ye kennyini Lukwago ate omulala gwa ngassi ogumuvunaanibwa omukyala Nalunga ow'ekibanja gwe yayingirira mu kibanja kye. Yagambye nti, baddayo mu kkooti ku Lwokusatu Magala aleme kwefuula muyi nnyo.

"Abantu bonna mu Busega omusajja oyo bamumanyi, babuuze olabe oba waliwo ayinza okumwogerako .ekintu ekirungi." Lukwago bwe yagambye. Yagambye nti, ekyamutuuseeko, "waliwo omusajja gwe yaggyako eby'ennyanja n'atamusasula bwe yagenze okumubanja, yamukubye luyi n'amugamba nti, ye ssente ze tebazizannyiramu era ekinaamutuukako ajja kukiraba bwe yagenze e Jinja by'ebyo ebyamutuuseeko."

Wabula waliwo n'abalowooza nti abasajja abaamuwamba e Iganga baali babbi era abaali balowooza okumubba n'okumutta batwale ssente ze baali balowooza nti alina so nga yali yaziguzeemu dda ebyennyanja e Jinja.

Era kirowoozebwa nti bakyayinza okuba nga be balina omuntu amuli okumpi yagala okwongera okumufera nga yeefuula omusawo w'ekinnansi alaba buli ky'akola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kizza Senninde

Bba wa minisita Rosemary Se...

ZEFANIYA Kizza Senninde nga ye bba wa minisita omubeezi ow'ebyenjgiriza ebisookerwako, Rose Nansubuga Senninde...

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Aba Bobi Wine bayomba lwa l...

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala...

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...