TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni ayatudde ebintu 4 by'amanyi ku Polof. Nsibambi n'engeri gye baasisinkanamu

Museveni ayatudde ebintu 4 by'amanyi ku Polof. Nsibambi n'engeri gye baasisinkanamu

Added 30th May 2019

PULEZIDENTI Museveni akungubagidde Polof. Apolo Nsibambi n’agamba nti okufa kwe, kumukubye wala kubanga babadde baakoma okwogera ku ssimu wiiki ssatu eziyise.

 Museveni ng'alamusa ku Nsibambi gye buvuddeko

Museveni ng'alamusa ku Nsibambi gye buvuddeko

Museveni yategeezezza nti, mukwano gwe George Nshemereirwe ye yamwanjulira Nsibambi ng'omusajja ayagala ennyo Obwakabaka era mu biseera ebyo, Ssekabaka Muteesa II yali mu buwahhanguse nga tannakisa mukono. Yagambye nti waliwo ebintu 4 by'ajjukira ku Nsibambi.

1 Baali baakajja mu buyinza, Nsibambi n'akulemberamu abakozi b'e Makerere abaali beekalakaasa olwa ssente entono ze baali bafuna ng'ensako. N'abasisinkana ku Conference Center ne batuuka ku nzikiriziganya okwegugunga ne kukoma.

2 Nsibambi yakulembera akakiiko akaabanja ‘EBYAFFE' Gavumenti bye yaddiza Obwakabaka era awo yamwewuunya engeri gye yali omumalirivu ng'anywerera ku nsonga.

3 Nsibambi yakwanaganya abayivu b'e Makerere ne Gavumenti ya bannansiko era yabayamba nnyo okuleeta emirembe mu ggwanga.

4 Museveni yagambye nti Nsibambi abadde musajja ayagala ennyo eddiini ye era Namirembe bwe yali mu ‘Tegula Pulojekiti', yamusendasenda naye n'agyegattako n'abaako kye yatoola ku nkulaakulana y'Ekkanisa.

Yagambye nti, Nsibambi atadde ettoffaali ddene nnyo ku nkulaakulana y'eggwanga lino era Uganda efiiriddwa omuntu ow'omugaso ennyo.

Museveni, yakyadde mu maka ga Nsibambi agasangibwa ku kyalo Bulange ‘A' mu muluka gw'e Lungujja mu mu Munisipaali y'e Lubaga ku Lwokusatu ng'ali ne mukyala we Janet Museveni.

Museveni yatenderezza Nsibambi okuba omukakkamu, omukozi ayagala ennyo, amaka ge n'eggwanga lye. Bino yabyogedde eri abakungubazi abaabadde mu maka ga Nsibambi.

Yasoose kwogera ne famire munda mu nnyumba n'agiwa amabugo n'oluvannyuma n'afuluma ebweru okwogerako eri abakungubazi.

MUSEVENI ASISINKANA NSIBAMBI

Yagambye nti, yasisinakana Nsibambi mu 1969 ku yunivasite e Makerere nga ye asoma mu yunivasite e Dar-el-Salam nga bw'ajja mu Uganda, asula mu kisulo kye kimu naye. Yagambye nti, waaliwo ebisulo bibiri, New Hall ne North Court nga Nsibambi asula ku kimu kw'ebyo.

Yategeezezza abakungubazi nti,

Abeebitiibwa bye bagambye

Nelson Kawalya yatuuse ku saawa 2:00 ez'oku makya n'abuuza ku Nnamwandu era yagambye nti asaaliddwa nnyo okufiirwa mukwano gwe nfa nfe kubanga emabegako abadde mulwadde naye omugenzi yagenda mu ddwaaliro n'amulabako kyokka nga naye mugonvu

Kawalya yayongeddeko nti, kimwewuunyisizza nnyo kubanga ku Ssande yajja n'akyalirako omugenzi nga mulamu bulungi. Omugenzi tubadde tusaba naye mu Kkanisa e Namirembe ate abadde musajja ateegulumiza wadde abadde muyivu ate ng'ali mu kifo ekinene naye nga teyeegulumiza ate nga mukakkamu ng'ayagala nnyo eddiini n'Ekkanisa.

Erias Lukwago Loodi Meeya wa Kampala yatuuse saawa 5:15 ez'oku makya yagambye nti, ye talyelabira mugenzi bwe baali mu Palamenti nga baagala okuyiisa etteeka nti, baggyewo okulonda mu Kampala nga November 3, 2010 n'agamba nti, nedda mu Kampala walina okubaawo okulonda.

Lukwago era yagambye nti abadde musajja ayagala Obwakabaka n'ensoga za Buganda era yalwanirira nnyo enkola ya Federo wadde nga mukama amuggye mu bulamu nga tetunnalaba bibala bya Federo naye yagirwanirira. Abadde musajja wa nsa era nga ne by'ayogera bya nsa ate abadde musajja mugezi ate omwetoowaze.

bwe yamala okusoma, yatandika okukola mu ofiisi ya Pulezidenti okutuusa Iddi Amini lwe yatwala obukulembeze ne beesogga ensiko okumala emyaka 16.

Omukwano gwabwe baagutwala mu maaso ne basisinkana nga mu nkiiko z'abazadde ku ssomero lya Kampala Parentes gye baali basomeseza abaana baabwe.

Museveni era yasiimye Nnamwandu Esther Nsibambi olw'okwagala n'okukuuma omugenzi n'atamulekerera mu kiseera ekizibu mw'abeeredde omulwadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...