TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannayuganda abakolera e Boston mu Amerika babanguddwa

Bannayuganda abakolera e Boston mu Amerika babanguddwa

Added 30th May 2019

BANNAYUGANDA mu kibuga Boston mu Amerika bongedde okulaga obumu n’okulumirirwa omutima gwa Uganda bwe beegasse ne basomesebwa ku ngeri gye bayinza okukulaakulanya ensi yaabwe.

  Majoba ng'ayogera mu musomo eri aba Bannayuganda e Boston.

Majoba ng'ayogera mu musomo eri aba Bannayuganda e Boston.

Bakiriziganyizza nti buli munnayuganda alinayo emikwano mu America egisendesende okusobola okuyambako okukulaakulanya eggwanga lyaffe nga baleeta ssente n'okuyamba abali mu buzibu.

Omu ku bakwanaganya enkola eno Mw. Musa Majoba enzaalwa y'eMukono kyokka ng'alina n'amaka mu Kampala yategeezezza nti ku lukomo lwa ssimu nti amaanyi bagenda kusinga kugassa ku kuyamba abali mu bwetaavu naddala abalwadde ba kansa, emitima ,okuwa abaana sikaala, okuyamba ku mirimu gya Kabaka wa Buganda saako okuwagira ebibiina nga ebya Rotary ebigatta abantu abangi.

Majoba yagambye nti baatandika dda okukola emirimu egyenjawulo nga okulwanirira bannayuganda abali ebweeru w'eggwanga nga bayita mu Ugandan Whistle blowers association okulaba nga tebatuusibwaako bizibu era ebintu babikola mu mateeka.

Majoba yagambye nti bangi ku bannayuganda bwebatuuka ebweeru beerabira okukomyaawo ssente mu nsi yaabwe ekintu . "twagala abantu baleete ssente mu ggwanga. Bajje bagule ettaka bazimbe amayumba, bakole faamu n'okusitula famire zaabwe" Majoba bweyagambye.

Yategeezezza nti nabo bateekwa okwenyigira mu kuwagira emirimu gy'obwa Kabaka okulaba nti busituka ate balowooze ne kukukomawo ekka okulaba ebyaalo gyebazaalibwa n'abantu be baaleka mu bitundu bwe bafaanana ne webatuuse nabo mu kwekulaakulanya.

Yagambye nti bangi abaasigala mu Uganda baagaggawala ate abalala baavu beerya nkuta nti munnayuganda abeera mu Amerika bwatunuulira embeera y'abantu be afuna ekifananyi ekirungi wa waasobola okutandikira n'okukola.

Bammemba mu lukiiko baamuwagidde ne bategeeza nti abamu baatandika dda okuwagira emirimu egyenjawulo mu ggwanga naddala egy'obwakabaka era ne bakkiriziganya okweyongera singa naye ayongera okubakwanaganya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lee man-hee ng'ayogera ku by'okusinza n'okutendereza

Akulira ekkanisa ya Shinche...

KULIRA ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus Lee man -her akubirizza enzikiriza ez'enjawulo mu Uganda n'okwetoloola...

Van Persie ne Van der Sar b...

Omudaaki Donny van de Beek ayatudde nti bannansi banne abaaliko mu ManU baamuwaanira ttiimu eno naye kye yavudde...

Koeman ne Messi

Sirina lutalo na Messi - Ko...

Omutendesi wa Barcelona, Ronald Koeman awaanye Lionel Messi nti muzannyi muyitirivu buli mutendesi gw'ayagala mu...

Iwobi

Iwobi ne Moise Kean Everto...

EMIKISA gy’abazannyi mukaaga (6) okuzannyira Everton sizoni eno giri mu lusuubo olw’ekigambibwa nti omutendesi...

Mourinho ne Bale

Gareth Bale nnamwagala dda ...

Mu kwagala okufuna enkolagana ey’amangu ne Gareth Bale, omutendesi wa Spurs, Jose Mourinho agambye nti yalwanako...