TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni agenda kuwa Abasiraamu ez'okuzimba ekijjukizo e Namugongo

Museveni agenda kuwa Abasiraamu ez'okuzimba ekijjukizo e Namugongo

Added 30th May 2019

PULEZIDENTI Yoweri Museveni asuubizza okuwa Abasiraamu ssente basobole okukulaakulanya ekifo kyabwe e Namugongo we battira Abasiraamu abajulizi nakyo kituukane n’omutindo.

 Pulezidenti Museveni (mu ssaati enjeru) n’abamu ku Basheikh abaasiibuluddwa.

Pulezidenti Museveni (mu ssaati enjeru) n’abamu ku Basheikh abaasiibuluddwa.

Yabadde ayanukula Mufti Sheikh Shabban Mubajje eyamusabye ayambe Abasiraamu nga bwe yasuubiza okuliyirira abantu abeesenza ku ttaka ewali ekijjukizo ky'Abajulizi Abasiraamu e Namugongo.

Museveni yagambye nti agenda kulagira abakozi mu ofi isi ye bakole ku nsonga eno n'agamba nti kyandibadde kyakolebwako dda naye Abasiraamu tebaasooka kubiteekamu bbugumu ng'Abakristu.

Museveni yabadde ayogera eri abakulembeze b'Abasiraamu n'abagenyi abaayitiddwa ku kijjulo kya Futaali mu makaage e Ntebe.

Ekijjulo kyetabiddwaako Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda, omumyuka asooka owa Katikkiro Hajji Ali Kivejinja, omumyuka wa ssentebe wa NRM Alhaj Moses Kigongo, akulira eddiini y'Abasodokisi mu Uganda, Yona Lwanga, ababaka b'amawanga, ababaka ba Palamenti n'abasuubuzi okwabdde Sofi a Namutebi amanyiddwa nga Maama Fiina.

Maama Fiina eyabadde ne muwala we Fiina yagambye nti bulijjo abadde ayitibwa okwetaba mu kusiibulukuka mu maka ga Pulezidenti nga takwetabako naye ku luno baamukubidde nti alina okubeerawo.

Yagambye nti engeri gy'ateekateeka okugenda e Mecca yabadde tasobola kusubwa mukisa guno.

Mufti Mubajje yasabye gavumenti eteekewo enkola y'okugula ebirime ebitereke mu masitoowa eddemu okubiguza abantu nga ebbeeyi erinnye.

Museveni yagambye nti yatandise okutambula mu byalo ng'abuulira abantu enjiri y'okukola kyokka n'agamba nti mu kaweefube w'okulwanyisa obwavu gwe yatandiseewo, tayagala kuddamu kusanga abalera engalo n'okutunuulira abalala nga bakola kye yagambye nti kivaako obwavu okweyongera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...