TOP

Mesach Semakula abakoowodde ku Africana

Added 30th May 2019

Ng'ebula ennaku mbale okutuuka ku kivvulu kye, Mesach Semakula agamba abalinze ku Africana abakube omuziki

 Okuva ku kkono; Sophie Gombya

Okuva ku kkono; Sophie Gombya

Mesach Semakula akoowodde abantu okweyiwa mu konsati ye etuumiddwa ‘Bwagamba Experience My Journey Episode 2' egenda okubeerawo nga June 14 ku Hotel Africana.

Mu lukung'aana lwa bannamawulire lwatuuzizza leero ku ku Africana, Semakula agembye takyali mu ttuluba ly'abayimbi abategeka ekivvulu okutongoza oluyimba, akola ekivvulu kujaguza n'okusanyukira awamu n'abawagizi be kubanga enyimba ze empya n'ekadde zonna zibannyumira.

Ono era akakasizza nga Ssabasajja bwe yasiimye okujja okubawo ku kivvulu kye kino nakowoola abantu okujja mu bungi okubugiriza Omutanda.

Semakula abadde ne Dr. Hilderman, Maureen Nantume,  Carol Nantongo wamu ne Sophie Gombya agasseeko nti "Mbalinze mbakube omuziki, luyimba ku luyimba okutandikira ku nkadde okutuuka we tuli kati."

Konsati eno etegekeddwa aba KT Events newagirwa Vision Group efulumya Bukedde, Semakula agamba agikoze okusanyukirako awamu n'abawagizi be abamubeereddewo n'okumuwagira ebbanga lino lyonna, abakube emiziki n'okubamalako situleesi era okuyingira 100,000/-, 200,000/- ne 2,000,000/- emmeeza.

Ye Dorah Namaala ku lwa Bukedde Tv ategezezza  nga bwe bagenda okuwa abantu omukisa okugenda mu kivvulu kino nga bayita mu kuwangula tikiti gwe ayagala wekuumire ku mikutu gya Bukedde egyenjawulo ne pulogulaamu za Bukedde Tv ez'amasanyu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...