TOP

Aba CMI balumbye poliisi bayimbule omusibe

Added 31st May 2019

WABADDEWO akasattiro ku poliisi y’e Matugga abajaasi ba CMI bataano bwe bagirumbye nga baagala okuyimbula omusibe agambibwa okusobya ku mwana. Bano baabadde bakulembeddwaamu Maj. Okua.

 Mungati

Mungati

Baabadde batambulira mu mmotoka y'amagye nnamba H4DF 922. Baasoose kulagira akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi eno, Sharon Okello okuyimbula omusibe Titus Mungati eyakwatiddwa ku musango gw'okusobya ku mwana ow'emyaka 13.

Bwe yagaanye kwe kugenda ku kaduukulu bamweggyireyo ne basanga nga kaggale.

Aba CMI tebaasoose kweyanjula era bakira bawa Okello ebiragiro nga tamanyi b'ayogera nabo okutuusa lwe yatandise okuwaanyisiganya nabo ebigambo olwo Okua naalyoka amweyanjulira nti ava mu CMI era ali ku ddaala lya Major.

Okello yannyonnyodde Okua nti, omuntu gw'ayagla bayimbule, ali ku musango gwa kusobya ku mwana ate gwa nnaggomola kyokka Okua yakiwakanyizza ng'agamba nti abamulumiriza nti yabadde asobezza ku mwana baabadde bamuwaayiriza bamulinako mpalana.

Okua yatabuse n'agamba Okello nti amuwadde eddakiika mbale ng'atadde omusibe wabula n'agaana.

Yagenze ku kaduukulu n'asanga nga kaliko kkufulu olwo ne yeekandagga n'afuluma.

Abaabaddewo baasoose kulowooza nti akimye mmundu, baagenze okulaba ng'avaayo na muggo.

Nga yenna aswakidde, yazzeeyo mu maaso ga Okello n'amugamba nti amuwadde essaawa bbiri zokka ng'ayimbudde omuntu we. Yalinnye mmotoka n'asimbula ne basajja be ne bagenda kyokka baalesse balaalise Okello nti baabadde baakuddayo mu bwangu.

Okello baamuddusizza ku poliisi mu bukuumi obwamaanyi ate Okua, olwavudde ku poliisi yalumbye famire y'omwana agambibwa okusobezebwako n'abatiisatiisa nabo okubakola akabi singa tebeesonyiwa Mungati kumusibako misango.

Kigambibwa nti, Mungati yalabirizza bazadde b'omwana nga tebaliiwo ku Mmande n'amusobyako n'amugamba nti singa agamba bazadde be, ajja kumutta Omwana yawadde obujulizi ku poliisi nti, zaali ssaawa 11:00 akawungeezi ku Mmande nga mukulu we agenze kugula ddagala Mungati naayingira ennyumba naggalawo oluggi naamugamba nti bwakuba enduulu agenda ku mutta.

Yagasseeko nti, mugamba nti agenda kumuwa 10,000/- singa akkiriza naatandika okumukwatirira ekyaddirira kuyuza kawale ke akomunda naamusobyako olwamala yagenda ssente tazimuwadde nga kwagasse n'okumutiisa nti, bwagamba omuntu yenna, ajja kumutta.

ENGERI GYE BAAMANYA NTI ASOBEZEDDWAKO

Omwana yatwaliddwa mu Matugga Health Centre III okumukebera gye baakakasirizza nti yabadde asobezeddwaako.

Aba famire, baagenze ku poliisi ne baggulawo omusango era oluvannyuma lw'ennaku bbiri, poliisi yakutte Mungati n'emuggalira.

POLIISI EYOGEDDE

Okello yagambye nti tebagenda kutiisibwatiisibwa nga bali ku kituufu era n'ategeeza nti essaawa yonna omusibe bagenda kumwongerayo e Kasangati.

Bagguddewo emisango ebiri, ogw'okusobya ku mwana guli ku fayiro CRB 194/2019 ate ogw'okutiisatiisa aba famire guli ku SD08/25/05/2019. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyabbye enkoko bamukubye mi...

Abatuuze baamukubye emiggo wabula nga bw’alaajana ng’agamba nga bw’atali mubbi ng’enkoko baagimuwadde buwi.

Bannakawempe mukolere okweg...

MINISITA omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi akubirizza BannaKawempe ne Kampala Central obuteemalira...

Aba NRM balidde mu kalulu k...

E Mpigi embiranye ebadde ku kifo kya Ssentebe w’abavubuka wakati wa munna NRM, Manisoor Muluya ne Ronald Kaleebu...

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

Abavuganya Ssekandi baagala...

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky’omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa...

Akatale k'e Wandegeya nga bwe kafaanana.

Abasuubuzi b'e Wandegeya be...

ABASUUBUZI mu katale k’e Wandegeya bagambye nga bwe bagudde mu lukwe lwa ssentebe waabwe, Jonathan Gitta okwagala...