TOP

UMI etikkidde abayizi 3000

Added 1st June 2019

ABAYIZI abasobye mu 3000 battikidwa ku ttendekero lya gavumenti erya Uganda management institute.

 
Bya Jaliat Namuwaya
 
Bano battikidwa mu diguli eyokubiri , eyokusatu ne post graduate mu masomo ag'enjawulo.
 
Pulezidenti Museveni yabadde alina okubeera omugenyi omukulu wabula yakiikiriddwa ssaabaminista w'eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda era mu bubaka bwe asabye abakulira ettendekero lino obutamala gattikira bayizi wabula bafube okulaba nti  bafulumya abo abafunye obukugu obumala okwetandikirawo emirimu kiyambeko mu byenkulaakulana by'eggwanga .
 
Rugunda agasseeko nti mu kiseera kino gavumenti obwanga eby'olekeza mu masomo ga ssaayansi ne tekinologiya.
 
Omukolo guno gwetabidwako minista omubeezi ow'amatendekero aga waggulu Dr. John Chrysestom Muyingo n'eyaliko minista ow'ebyenjigiriza eyawummula, Namirembe Bitamazire nga ono yattikide abayizi .
 
 Mu bubaka bwe Bitamazire asabye abaatikidwa okwewala okwetaba mu bikolwa eby'okulya enguzi ate ye minista Muyingo n'abakubiriza   okw'olesa omutindo gwe babataddemu eyo gyebalaga .
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono