TOP

Basabye ogwa Nambooze gugobwe

Added 2nd June 2019

Basabye ogwa Nambooze gugobwe

 Nambooze (wakati) ne Muyizi (owookubiri ku ddyo) nga bava mu kkooti.

Nambooze (wakati) ne Muyizi (owookubiri ku ddyo) nga bava mu kkooti.

OMULAMUZI Ponsiano Odwori owa kkooti ento e Nakawa awadde oludda oluwaabi emyezi esatu okuleeta obujulizi obuluma omubaka wa munisipaali y'e Mukono, Betty Nambooze ku musango ogw'okukuma omuliro mu bantu ng'akozesa emikutu gy'empuliziganya gwe bamuvunaana.

Odwori okuwa ekiragiro kino kiddiridde looya wa Nambooze, Samuel Muyizi okuteekayo okusaba nga ng'ayagala omusango guno gugobwe kubanga oludda oluwaabilulemereddwa okuleeta obujulizi nga kino kityoboola eddembe lye kubanga bwe baamukwata ku musango guno baamutulugunya.

Muyizi agambye nti kkooti yalagira oludda oluwaabi okubawa obujulizi ku musango guno balabe engeri gye banaaguwozaamu kyokka kati gugenda kuwera mwaka tebabuleetanga.

Wabula omuwaabi wa gavumenti Chrisitne Apoloti awakanyizza ebyogeddwa Muyizi n'agamba nti tegunnawera mwaka bukyanga Nambooze bamuggulako omusango. Kkooti tennaba kuteekawo lunaku lwa kuwulirako musango guno

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.