TOP

Rwanda akomye ejjoogo - Uganda

Added 3rd June 2019

Omumyuka w’atwala ebikwekweto mu poliisi, James Nuwagira, bwe yatuuse ku nsalo ya Rwanda ne Uganda yalagidde RPC Richard Ecega obutayongera kwogera na DPC w’e Rwanda era n’amusaba baddeyo kuba ekyabadde kibaleese baabadde bakimalirizza.

 RPC wa Kigezi, Acege nga yeetegereza ejjinja eryasimbibwa ku nsalo e Kiruhura mu disitulikiti y’e Rukiga. Rwanda erumiriza nti ekitundu ekisinga obunene okuli bannansi ba Uganda kyayo.

RPC wa Kigezi, Acege nga yeetegereza ejjinja eryasimbibwa ku nsalo e Kiruhura mu disitulikiti y’e Rukiga. Rwanda erumiriza nti ekitundu ekisinga obunene okuli bannansi ba Uganda kyayo.

Wabula abatuuze abaakuliddwa ssentebe w'ekitundu kino, Abel Rubahika tebaamatidde era baasigadde mu bbanga kuba baabadde basuubira abeebyokwerinda okuva e Uganda okusalawo ekyenkomeredde oba ddala abattiddwa baabadde ku ludda lwa Uganda oba mu Rwanda ng'abaayo bwe balumiriza.

Mu kusooka, waabaddewo akatuubagiro ku nsalo e Katuna, Uganda bwe yabadde ekwasa Rwanda omulambo gw'omuntu waabwe eyakubwa amasasi.

Ab'e Rwanda abaakulembeddwa Meeya w'e Nyagatare Claudian David Mushabe ne RPC wa Eastern Province Emmanuel Hatari baategeezezza ekibinja ekyavudde mu Uganda nti abasuubuzi abattiddwa baabadde ku ttaka lya Rwanda era baalangiddwa ku kukusa byamaguzi.

Ab'e Uganda baakulembeddwa omubaka wa Rukiga, Caroline Kamusiime, omumyuka wa RDC, Gadi Rugaaju, nga baawerekeddwaako ababaka b'ebitebe by'amawanga ag'enjawulo okwabadde South Sudan, Burundi, Tanzania, Kenya, Amerika, Bungereza, Russia, Bufaransa n'amawanga amalala.

Bano baagendedde mu nnyonyi nnamunkanga bbiri ezaavudde e Kololo ne bagenda e Kabale gye baavudde okugenda ku nsalo e Katuna.

Kyokka n'e Katuna waabaddewo akatuubagiro mu kuwaayo omulambo ekibinja ekyavudde e Rwanda bwe kyagaanyi okutuuka awategekeddwa omukolo mu kifo ekiyitibwa ‘No Man's Land' nga balabika baabadde beekengera ebyabadde bigenda mu maaso ne basalawo omukolo ne guggweera mu luguudo wakati.

Meeya Mushabe yagambye nti Rwanda tegenda kukkiriza bakukusa byamaguzi nga babiggya mu Uganda kye yagambye nti kikolebwa nga n'aboobuyinza mu Uganda batunula.

Meeya era yagambye nti waliwo bannansi ba Rwanda bangi abakwatiddwa abeebyokwerinda mu Uganda okuli n'abajaasi baabwe ne basibibwa mu bifo ebitamanyiddwa be yagambye nti nabo bandibadde bazzibwayo nga bwe baabakwasizza omulambo.

Wabula omubaka wa Rukiga mu palamenti, Caroline Kamusiime yasabye Rwanda ekome ku baserikale baabwe okukomya obukambwe n'okwesogga Uganda n'emmundu n'agamba nti abatuuze abasinga obungi kumpi ebitundu 90 ku buli 100 mu ggombolola y'e Kamwezi bannansi ba Rwanda kyokka tewali abagobaganya.

Yasabye Rwanda ekomye okutuntuza abantu kuba abasinga batuuze baayo wabula waddewo enkolagana y'amawanga n'obwasseruganda.

Okuva Rwanda lwe yatangira abatuuze baayo okuyingira e Uganda, wabaddewo obunkenke bungi nga newankubadde Bannayuganda bakkirizibwa okugenda e Rwanda, bangi batya okugendayo si kulwa nga bakwatibwa ne baggalirwa.

Kigambibwa nti Rwanda yayongedde okuyiwa abaserikale ku nsalo awattiddwa abasuubuzi ababiri ekyongedde okutiisa abatuuze ababadde bakolagana ne bannaabwe okuva e Rwanda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...

Ab'ekkanisa ya Shincheonji ...

Ab'ekkanisa ya Shincheonji baweddeyo omusaayi okutaasa Bannnaabwe okirwadde kya Corona