TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okweyambisa Butto wa kaamulali omuddugavu akuvumula alusa n'okuva ku ssigala

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okweyambisa Butto wa kaamulali omuddugavu akuvumula alusa n'okuva ku ssigala

Added 5th June 2019

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okweyambisa Butto wa kaamulali omuddugavu akuvumula alusa n’okuva ku ssigala

 Obusigo bwa kaamulali omuddugavu mu kacupa ye butto akamuddwa mu kaamulali.

Obusigo bwa kaamulali omuddugavu mu kacupa ye butto akamuddwa mu kaamulali.

WIIKI ewedde nakulaze ennima ya kaamulali omuddugavu Abaswayiri gwe baakazaako erya piripirimanga oba muyite Black pepper ne nkulaga bwosobola okumukolamu ensimbi ezisoba ne mu bukadde 100 omwaka.

Leero njagadde okukulaga emigaso gya kaamulali ono naddala ng'omukamuddemu butto. Jjukira nti abantu mu mawanga nga Abayindi, Abachina, Vietnam n'abalala bamwettanira kyokka ne wano mu Uganda abafumba ppiraawo bamukozesa. Kino kitegeeza nti, bw'oba wali olidde ku ppiraawo, wamulyako.

Naye era waliwo abantu abatamwawula ku bika bya kaamulali omulala, naye alina enjawulo mu nkula n'emigaso. Eno y'emu ku nsonga lwaki ensigo ze twazikamulamu butto okusobola okugonzezaamu abantu okumufuna amangu.

Edda ssente nga tezinnaba kujja, yakozesebwa nga ssente oli ng'amuwaayo ne bamuwaamu ekintu ky'ayagala. Kino kyasinga mu Bawarabu ne Asia. Ayamba eddagala okutambula amangu mu mubiri olw'ekirungo kya ‘piperine' ekimulimu.

Kino kiyamba n'okuwa amaanyi eddagala okugeza ssinga omira empeke n'omukozesa oyanguwa okuwona. Ssinga omugatta mu butto w'ebinzaali, akuyamba obutalwala alusa, okuziyiza okuzimba ennyingo, okukuwonya embalabe, obutalumwa nnyingo n'ebirala. Ssinga omira empeke eziwonya omusujja, n'onywerako amatondo ataano (5) mu mazzi agabuguma owona mangu kubanga ayamba okutuusa ekirungo ekituuka ku butoffaali obusembayo obuwuka obuleeta omusujja gye butera okwekweka ne bufa.

Kyova olaba omuntu tasobola kumukozesa omusujja ne gugaana okuwona. Ayamba okutambuza ebiriisa okuva mu bibala, ssinga olya emiyembe oba kaloti kyanguwa okutuuka mu butofaali n'obifunamu omuganyulo. Okugeza ssinga olya muyembe oba omucungwa ng'oyagala kuziyiza ssennyiga nywerako butto wa ‘black pepper'.

Ayamba ku mambulugga, omunywa n'okumusiiga ku matama. Omwana alwadde namusuna oba ebisente omusiiga n'awona. Alina ekifu ku maaso, mutonnyeze ku maaso ajja kukuyamba newankubadde ng'abalagala. Ayamba okutambuza omusaayi okutuuka obulungi mu busuwa bw'omu bwongo omuntu n'aba nga talumwa mutwe kubanga atwalayo omukka omulungi.

Ssinga tegawona ate gayinza okuvaako obulwadde bwa sukaali kubanga galekamu obutwa mu mubiri obwonoona akataago. Mulungi eri abantu abalina amasavu mu misuwa, agayamba okutereeza emisuwa n'okukkakkanya puleesa. Omuntu alina akafuba, amuyamba okuggula amawuggwe n'aba ng'asobola okussa obulungi.

Ayamba okukumalako ekyoyoyo kya sigala, omunywi wa sigala asobola okumumugobako. Ku bantu abakola ssumbuusa z'ennyama, bw'omuteekamu aziyamba obutafa mangu kye kimu ne bw'oba omutadde mu nva tezigaga mangu.

Ayamba abantu abeesiba embuto. Okwejjanjaba teeka amatondo ataano (5) mu mazzi agabuguma lusumulukuke. Mulungi ku bantu abaagala okutangira kookolo kubanga ayoza mu mubiri ekikuuma endaga butonde y'omuntu n'ebeera mu mbeera ennungi.

Omuntu asannyaladde (stroke), nga yakasannyalala muteeke amatondo ga budalasiini 10, butto w'ekinzaali amatondo 10 ne black pepper 10 wansi w'olulimi gayambe okuddusa gali amalala okutuuka ku busuwa obuba bwekutte ne buta. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.