TOP

Embeera ya Don Zella ekanze abawagizi be

Added 5th June 2019

Nnalongo Don Zella awereddwa ekitanda embeera ekanze abawagizi be.

EMBEERA ya Nnaalongo Don Zella, omu ku bakyala abamanyiddwa okulya obulamu etabudde n'okweraliikiriza abooluganda n'abawagizi be bw'atwaliddwa mu ddwaaliro ng'ali bubi.

Obulwadde bwamugwiridde ku Lwakutaano nga yasoose kulowooza musujja n'amira eddagala kyokka yagenze okulaba ng'ayongera kutabuka kwe kumuddusa mu ddwaaliro lya Lahey hospital & Medical Center e Burlington, Massachusetts mu Amerika. 

Mu ddwaaliro bagenze okumwekebejja ng'obuzibu buli ku nsigo ze zombi ezimuviiriddeko obulumi obw'amaanyi.

Okusinziira ku basawo, ensigo ze zibaddetezikyakola bulungi nga baasoose kutegeeza nga bwe ziremereddwa kye baayise (Kidney failure) wabula baalaze nga bwe yabadde ‘yinfekisoni'.

We baamutwalidde mu ddwaaliro, Don Zella yabadde tasobola kutambula ng'akaaba obulumi obw'amaanyi.

Oluvannyuma lw'okudda engulu twayogeddeko naye ku ssimu wakati mu bulumi yategezezza nti wadde embeera tenaba kulongoka afunyewo ku njawulo entonotono nasaba abawagizi be okwongera okumusabira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo