TOP

Gavt. eyanukudde abasuubuzi ku kasasiro

Added 7th June 2019

GAVUMENTI eyanukudde abasuubuzi abaginenya olw’engeri gy’ekuttemu ensonga za kasasiro.

 Katongole (wakati ) ng’alaga obutali bumativu bw’abasuubuzi b’ekibiina kya KATA ky’akulembera.

Katongole (wakati ) ng’alaga obutali bumativu bw’abasuubuzi b’ekibiina kya KATA ky’akulembera.

Bya Moses Kigongo

GAVUMENTI eyanukudde abasuubuzi abaginenya olw'engeri gy'ekuttemu ensonga za kasasiro.

Kino kiddiridde abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya Kampala Traders Association (KATA) okuvaayo wiiki ewedde ne bavumirira abakungu ba gavumenti abaakulembeddwa minisita wa Kampala, Beti Kamya olw'okwongera kkampuni za kasasiro ezaakulembeddwa Nabugabo Updeal Joint Venture omwaka mulamba okugira nga zibayoolera kasasiro mu kibuga wakati nga bwe bamaliriza okukola ku nsonga y'endagaano empya ze basuubira okuwa kkampuni eziyoola kasasiro.

Abasuubuzi bano abaakulembeddwa Godfrey Katongole ssentebe wa KATA n'abasuubuzi okuva mu munisipaali za Kampala ettaano okuli; Makindye, Kawempe, Lubaga, Nakawa ne Kampala Central baatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire ku kizimbe kya Ssekaziga ne balaga obutali bumativu ku nsonga za kasasiro ez'enjawulo omwabadde; ekya gavumenti okwesuulirayo ogwa nnaggamba nga kkampuni okuli; Nabugabo, Homeklin Services (U) Ltd. ne Kampala Solid Waste Management Consortium bakyagenda mu maaso n'okubasoloozaako ssente za kasasiro ze balumiriza nti zisoloozebwa mu bumenyi bw'amateeka.

Mu nsonga endala mwabaddemu; eky'okusaba gavumenti okutandika okubayoolera kasasiro nga yeeyambisa ssente z'omusolo ze bagamba nti zibasoloozebwamu n'ekigendererwa ky'okubakolera ku nsonga omuli, eza kasasiro, ebyobulamu n'okubagogolera emyala.

Kyokka ne balaga obwennyamivu nti ssente zino tezibayamba.

Bano era basabye Pulezidenti Museveni abakkirize okwesondamu ssente ensaamusaamu okusobola okumweyoolera bwe kibeera nga gavumenti eremereddwa.

Abasuubuzi bagamba nti bakooye okusibwanga ku poliisi olwa kasasiro, okukubwa n'okutiisibwatiisibwa abamu ku baserikale ba kkampuni ezimuyoola.

Wabula mu kubanukula, omuyambi wa minisita ku nsonga z'amawulire, Hassan Kasibante yasambazze ebyogerwa nti Kamya yayongedde kkampuni za kasasiro omwaka mulamba n'agamba nti si kituufu.

Yannyonnyodde nti mu kiseera kino bakyetegereza kontulakiti ezaaweebwa kkampuni zino n'ekigendererwa ky'okumalawo okusika omuguwa okuliwo wakati w'abasuubuzi n'abamuyoola.

Yabakakasizza nti ekiseera ky'okuddamu okugaba kontulakiti empya bwe kinaatuuka baakulanga mu mawulire bafune kkampuni ezinaabeera n'ebisaanyizo bye beetaaga zeewangulire omulimu guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...