TOP

Maneja wa bbaasi Rwanda gw'ekutte alojja

Added 9th June 2019

Maneja wa bbaasi Rwanda gw'ekutte alojja

 Omusuubuzi Emmanuel Sebizuri

Omusuubuzi Emmanuel Sebizuri

RWANDA eyongedde obunkenke ku nsalo abebyokwerinda baayo bwe bakutte Munnayuganda omusuubuzi abadde agenzeeyo n'emusiba okumala ennaku oluvannyuma n'emusuula ku nsalo. Emmanuel Sebizuri maneja wa kkampuni ya bbaasi eya ‘Horizon Bus Company' akolera ku nsalo e Kyanika era nga musuubuzi akyusa ssente era ng'alina n'ekifo kya Mobile Money ku nsalo e Kyanika ye yakwatiddwa abeebyokwerinda bwe yabadde agenzeeyo okukima ssente za kkampuni eno.

Kigambibwa nti ab'e Rwanda baludde nga beekengera Bannayuganda okubeera mu lukwe lw'okuyamba ku bannansi ba Rwanda abatolokayo olw'embeera enzibu gye bayitamu ne baddukira e Uganda. Ab'e Rwanda bateebereza nti, waliwo akabinja ka Bannayuganda ababayambako okudduka omuli n'ababafunira tikiti za bbaasi ze beeyambisa okudduka.

Sebizuri yakwatiddwa ku Lwokusatu oluvannyuma lw'abeebyokwerinda e Rwanda okukwata omukazi omusuubuzi gw'abadde akolagana naye e Rwanda. Ensonda zaategeezezza nti abaserikale b'e Rwanda baakutte omusuubuzi eyategeerekeseeko erya Hajati Sauda akolera e Kidaho kkilommita 10 okuva ku nsalo e Rwanda mu disitulikiti y'e Musanze okumpi n'olusozi lw'e Muhabura.

Omukyala ono naye alina ekifo kya 'Mobile Money' e Rwanda ne bamukaka okukubira Sebizuri anone ssente ze eziwera obukadde butaano n'emitwalo 20 eza Uganda. Sauda naye akolera kkampuni ya bbaasi za Jaguar ng'asaza lisiiti, akyusa ssente era alina 'Mobile Money'.

Wabula Sebizuri bwe yagenzeeyo, abaserikale abaabadde baliimisa omukazi yabadde yaakazimukwasa ne bamuvumbagira ne bamutwala ku poliisi y'e Rugarama gye baamugye ne bamuvuga okumutwala ku kitebe kya poliisi e Kigali gy'abadde yaggalirwa mu kaduukulu.

Wabula kino kyaleeseewo akasattiro mu kitundu era abehhanda n'abasuubuzi mu kitundu kino beekubidde enduulu eri abatwala ebyokwerinda okwabadde omubaka wa Gavumenti Capt. Peter Mugisha ne poliisi abaatandikiddewo okukola ku nsonga z'okumuyimbula. Kigambibwa nti Capt. Mugisha yatemezza ku kitebe kya Uganda e Rwanda okuyambako mukulondoola ensonga za Munnayuganda eyakwatiddwa.

Maneja wa Horizon, Lionel Muhangi, mutabani w'omugenzi Charles Muhangi eyali nnannyini bbaasi za Horizon yategeezezza nti, yafunye amawulire g'okukwata omuntu we era n'asindikayo omu ku bakozi ayitibwa Derrick alondoole ensonga eno

. Mukyala wa Sebizuri ayitibwa Flavia Nyirarucaba yagambye nti, yasembye okumuwuliza ku Lwokusatu bwe yategeezezza nti, waliwo eyamuyise anone ssente ze e Rwanda kyokka teyazzeemu kumuwuliza. Wabula mutabani we ayitibwa Tony Sebizuri eyaakamaliriza emisomo gye mu yunivasite y'e Kyambogo yategeezezza nti, bwe yafunye amawulire g'okukwatibwa kwa kitaawe kwe kugenda e Kyanika okwegatta ku muyiggo.

Wabula yagambye nti ku Lwokutaano akawungeezi baafunye essimu okuva ewa kitaawe ng'abategeeza nga bwe baabadde bamuyimbudde okuva mu kaduukulu era nga bamuleeta ku nsalo e Kyanika. Yagambye nti abooluganda ne mikwano gye baakuhhaanidde ku nsalo mu kujaganya okwamaanyi wabula kigambibwa nti, abaserikale olwalengedde abantu abangi ne bamuzzaaayo. Oluvannyuma beekwasizza nti ensalo y'e Kyanika eggalwawo ssaawa 3:00 ez'ekiro ne bamuzzaayo, olwo ne bamuvuga okumutwala ku nsalo y'e Katuna.

SEBIZURI AYOGEDDE Ku Lwomukaaga bwabadde busasaana, kabangali ya poliisi eyabaddeko abaserikale n'endala ezaabadde zivaako emabega zaatusizza Sebizuri ku nsalo e Katuna ewataabadde bamulindiridde ne bamusuula awo n'ayingira mu Uganda. Yagambye nti yasoose kweraliikirira kyokka olwamutuusizza ku nsalo ne bamuteeka awo n'ayingira mu Uganda n'alyokka assa ekikkowe.

Sebizuri yattottodde nti abasajja baamukutte oluvannyuma lw'okusisinkana omukazi ne bamuggyako ne ssente ze yabadde amuwadde ne bamutwala e Rubanda gye baamugye mu kiro ne bamutwala ku kitebe kya poliisi e Kigali. Yagambye nti okumala ennaku babadde bamwetayirira nga bamusoya kajjojijjoji w'ebibuuzo ku kiki ky'amanyi ku balumbaganyi abatawaanya eggwanga lya Rwanda ne ku ky'okukusa Abanyarwanda abadduka mu nsi yaabwe. "Abasajja bakira mbagamba nti kimu nti nze ndi wa byantambula era omulimu gwange kusaabaza bantu era ebyokwerinda sirina kye mbimanyiiko era bakira babimbuuza nga mbategeeza nti, sibimanyi," Sebizuri bwe yagambye.

Yagambye nti baabadde bamuteebereza okubaako enkolagana ey'omunda ne Muky. Sauda wabula n'agamba nti, tebaamutulugunyizza era bwe baatuuse okumuyimbula ne bamuddiza ssente ze zonna.

Yagambye nti Muky. Sauda era baabadde bamuteebereza okuba ng'aliko bannansi baafunira paasipoota okutoloka era baagala okumanya oba tikiti za bbaasi waliwo z'agabira Abanyarwanda abadduka kyokka byonna n'abyegaana. Abatuuze mu kitundu kino bali ku bwerinde olw'abatwala ebyokwerinda e Rwanda okwongera okukambuwala nga bagezaako okuyigga buli gwe bateebereza.

Gyebuvuddeko Meeya wa Katuna, Nelson Baba Nshangabaseija yategeeza nti abaserikale b'e Rwanda baatandise n'okuyingira mu Uganda n'emmundu ne bakwata abantu be bateebereza okubaako kye bamanyi ku byekuusa ku byokwerinda. Yategeeza nti waliwo omusuubuzi gwe baakuba amasasi munaana kyokka n'asimattuka bwe yadduka n'afuna obuyambi.

Emabegako ab'e Rwanda baasanga abakazi basatu Bannayuganda abaali balima ne babakwata kyokka ne babayimbula.

ENSBIBUKO Y'OBUTAKAANYA BWA UGANDA NE RWANDA

Rwanda yaggala ensalo yaayo nga February 27 n'egaana ebyamaguzi bya Uganda ebisinga okutwalibwayo. Yagaana ne bannansi baayo okujja mu Uganda ng'egamba nti bwe batuuka wano batulugulunyizibwa n'okusibwa mu makomera eddembe lyabwe ne lityoboolebwa. Kyokka yagamba nti Bannayuganda abaagala okugenda e Rwanda n'abaliyo terina ky'egenda kubakola era ddembe okubeerayo.

Rwanda erumiriza nti Uganda erina abagiyeekera b'esirikidde era nti, ekotoggera ebyenfuna byayo ng'essa obukwakkuliizo ku byamaguzi byayo ebiva e Mombasa ebiyitira wano okutwalibwa e Kigali.

Gye buvuddeko omujaasi wa Rwanda yasala ensalo n'ajja ku ttaka lya Uganda n'attirako abantu babiri okwali Munnayuganda n'ow'e Rwanda gwe yalumiriza nti yali akukusa ebyamaguzi.

Uganda gy'eyita mu minisita w'ensonga z'ebweru Sam Kuteesa yafulumya ekiwandiiko nga yeegaana ebyogerwa Rwanda era minisitule y'emu n'efulumya n'ekirala nga yeemulugunyiza Rwanda olw'enneeyisa eringa esoomooza.

Ebyo nga biri awo bannamatteeka b'Abanyarwnda abasibirwa mu Uganda balumirizza nti eddembe ly'abantu baabwe lityoboolwa. Bannamatteeka Gawaya Tegulle ne Aboneka Michael abeegattiddwaako Ssaabawandiisi w'ekibiina ekigatta bannamatteeka mu Uganda ekya ‘Uganda Law Society' Francis Harimwomugasho baategeezezza bannamawulire nti, bannansi ba Rwanda nga 100 bali mu mikono gy'ekitongole ky'amagye ga Uganda ekikola ku kuketta ekya CMI gye baasibwako emisango egitali gimu. Bannamateeka bano baagambye nti ekiseera kituuse amawanga amalala gayingire mu nsonga eno.

Minisita Kuteesa yafulumya ekiwandiiko nga May 17 ng'agamba abantu b'e Rwanda abajja mu Uganda balina okukuuma amateeka n'agamba nti, omuntu yenna anaagamenya ajja kutwalibwa mu mbuga. Kyokka bannamatteeka bagamba nti abakwatibwa ne batatwalibwa mu kkooti, kkooti ne bwe ziragira baleetebwe ebiragiro tebissibwa mu nkola

RWANDA eyongedde obunkenke ku nsalo abebyokwerinda baayo bwe bakutte Munnayuganda omusuubuzi abadde agenzeeyo n’emusiba okumala ennaku oluvannyuma n’emusuula ku nsalo. Emmanuel Sebizuri maneja wa kkampuni ya bbaasi eya ‘Horizon Bus Company’ akolera ku nsalo e Kyanika era nga musuubuzi akyusa ssente era ng’alina n’ekifo kya Mobile Money ku nsalo e Kyanika ye yakwatiddwa abeebyokwerinda bwe yabadde agenzeeyo okukima ssente za kkampuni eno. Kigambibwa nti ab’e Rwanda baludde nga beekengera Bannayuganda okubeera mu lukwe lw’okuyamba ku bannansi ba Rwanda abatolokayo olw’embeera enzibu gye bayitamu ne baddukira e Uganda. Ab’e Rwanda bateebereza nti, waliwo akabinja ka Bannayuganda ababayambako okudduka omuli n’ababafunira tikiti za bbaasi ze beeyambisa okudduka. Sebizuri yakwatiddwa ku Lwokusatu oluvannyuma lw’abeebyokwerinda e Rwanda okukwata omukazi omusuubuzi gw'abadde akolagana naye e Rwanda. Ensonda zaategeezezza nti abaserikale b’e Rwanda baakutte omusuubuzi eyategeerekeseeko erya Hajati Sauda akolera e Kidaho kkilommita 10 okuva ku nsalo e Rwanda mu disitulikiti y’e Musanze okumpi n’olusozi lw’e Muhabura. Omukyala ono naye alina ekifo kya 'Mobile Money' e Rwanda ne bamukaka okukubira Sebizuri anone ssente ze eziwera obukadde butaano n’emitwalo 20 eza Uganda. Sauda naye akolera kkampuni ya bbaasi za Jaguar ng’asaza lisiiti, akyusa ssente era alina 'Mobile Money'. Wabula Sebizuri bwe yagenzeeyo, abaserikale abaabadde baliimisa omukazi yabadde yaakazimukwasa ne bamuvumbagira ne bamutwala ku poliisi y’e Rugarama gye baamugye ne bamuvuga okumutwala ku kitebe kya poliisi e Kigali gy'abadde yaggalirwa mu kaduukulu. Wabula kino kyaleeseewo akasattiro mu kitundu era abehhanda n’abasuubuzi mu kitundu kino beekubidde enduulu eri abatwala ebyokwerinda okwabadde omubaka wa Gavumenti Capt. Peter Mugisha ne poliisi abaatandikiddewo okukola ku nsonga z’okumuyimbula. Kigambibwa nti Capt. Mugisha yatemezza ku kitebe kya Uganda e Rwanda okuyambako mukulondoola ensonga za Munnayuganda eyakwatiddwa. Maneja wa Horizon, Lionel Muhangi, mutabani w’omugenzi Charles Muhangi eyali nnannyini bbaasi za Horizon yategeezezza nti, yafunye amawulire g’okukwata omuntu we era n'asindikayo omu ku bakozi ayitibwa Derrick alondoole ensonga eno. Mukyala wa Sebizuri ayitibwa Flavia Nyirarucaba yagambye nti, yasembye okumuwuliza ku Lwokusatu bwe yategeezezza nti, waliwo eyamuyise anone ssente ze e Rwanda kyokka teyazzeemu kumuwuliza. Wabula mutabani we ayitibwa Tony Sebizuri eyaakamaliriza emisomo gye mu yunivasite y’e Kyambogo yategeezezza nti, bwe yafunye amawulire g’okukwatibwa kwa kitaawe kwe kugenda e Kyanika okwegatta ku muyiggo. Wabula yagambye nti ku Lwokutaano akawungeezi baafunye essimu okuva ewa kitaawe ng’abategeeza nga bwe baabadde bamuyimbudde okuva mu kaduukulu era nga bamuleeta ku nsalo e Kyanika. Yagambye nti abooluganda ne mikwano gye baakuhhaanidde ku nsalo mu kujaganya okwamaanyi wabula kigambibwa nti, abaserikale olwalengedde abantu abangi ne bamuzzaaayo. Oluvannyuma beekwasizza nti ensalo y’e Kyanika eggalwawo ssaawa 3:00 ez’ekiro ne bamuzzaayo, olwo ne bamuvuga okumutwala ku nsalo y’e Katuna. SEBIZURI AYOGEDDE Ku Lwomukaaga bwabadde busasaana, kabangali ya poliisi eyabaddeko abaserikale n’endala ezaabadde zivaako emabega zaatusizza Sebizuri ku nsalo e Katuna ewataabadde bamulindiridde ne bamusuula awo n'ayingira mu Uganda. Yagambye nti yasoose kweraliikirira kyokka olwamutuusizza ku nsalo ne bamuteeka awo n'ayingira mu Uganda n'alyokka assa ekikkowe. Sebizuri yattottodde nti abasajja baamukutte oluvannyuma lw’okusisinkana omukazi ne bamuggyako ne ssente ze yabadde amuwadde ne bamutwala e Rubanda gye baamugye mu kiro ne bamutwala ku kitebe kya poliisi e Kigali. Yagambye nti okumala ennaku babadde bamwetayirira nga bamusoya kajjojijjoji w’ebibuuzo ku kiki ky'amanyi ku balumbaganyi abatawaanya eggwanga lya Rwanda ne ku ky'okukusa Abanyarwanda abadduka mu nsi yaabwe. “Abasajja bakira mbagamba nti kimu nti nze ndi wa byantambula era omulimu gwange kusaabaza bantu era ebyokwerinda sirina kye mbimanyiiko era bakira babimbuuza nga mbategeeza nti, sibimanyi,” Sebizuri bwe yagambye. Yagambye nti baabadde bamuteebereza okubaako enkolagana ey'omunda ne Muky. Sauda wabula n’agamba nti, tebaamutulugunyizza era bwe baatuuse okumuyimbula ne bamuddiza ssente ze zonna. Yagambye nti Muky. Sauda era baabadde bamuteebereza okuba ng’aliko bannansi baafunira paasipoota okutoloka era baagala okumanya oba tikiti za bbaasi waliwo z'agabira Abanyarwanda abadduka kyokka byonna n’abyegaana. Abatuuze mu kitundu kino bali ku bwerinde olw’abatwala ebyokwerinda e Rwanda okwongera okukambuwala nga bagezaako okuyigga buli gwe bateebereza. Gyebuvuddeko Meeya wa Katuna, Nelson Baba Nshangabaseija yategeeza nti abaserikale b’e Rwanda baatandise n’okuyingira mu Uganda n’emmundu ne bakwata abantu be bateebereza okubaako kye bamanyi ku byekuusa ku byokwerinda. Yategeeza nti waliwo omusuubuzi gwe baakuba amasasi munaana kyokka n’asimattuka bwe yadduka n'afuna obuyambi. Emabegako ab’e Rwanda baasanga abakazi basatu Bannayuganda abaali balima ne babakwata kyokka ne babayimbula. ENSBIBUKO Y’OBUTAKAANYA BWA UGANDA NE RWANDA Rwanda yaggala ensalo yaayo nga February 27 n’egaana ebyamaguzi bya Uganda ebisinga okutwalibwayo. Yagaana ne bannansi baayo okujja mu Uganda ng’egamba nti bwe batuuka wano batulugulunyizibwa n’okusibwa mu makomera eddembe lyabwe ne lityoboolebwa. Kyokka yagamba nti Bannayuganda abaagala okugenda e Rwanda n’abaliyo terina ky’egenda kubakola era ddembe okubeerayo. Rwanda erumiriza nti Uganda erina abagiyeekera b'esirikidde era nti, ekotoggera ebyenfuna byayo ng’essa obukwakkuliizo ku byamaguzi byayo ebiva e Mombasa ebiyitira wano okutwalibwa e Kigali. Gye buvuddeko omujaasi wa Rwanda yasala ensalo n’ajja ku ttaka lya Uganda n’attirako abantu babiri okwali Munnayuganda n’ow’e Rwanda gwe yalumiriza nti yali akukusa ebyamaguzi. Uganda gy’eyita mu minisita w’ensonga z’ebweru Sam Kuteesa yafulumya ekiwandiiko nga yeegaana ebyogerwa Rwanda era minisitule y’emu n’efulumya n’ekirala nga yeemulugunyiza Rwanda olw’enneeyisa eringa esoomooza. Ebyo nga biri awo bannamatteeka b’Abanyarwnda abasibirwa mu Uganda balumirizza nti eddembe ly’abantu baabwe lityoboolwa. Bannamatteeka Gawaya Tegulle ne Aboneka Michael abeegattiddwaako Ssaabawandiisi w’ekibiina ekigatta bannamatteeka mu Uganda ekya ‘Uganda Law Society’ Francis Harimwomugasho baategeezezza bannamawulire nti, bannansi ba Rwanda nga 100 bali mu mikono gy’ekitongole ky’amagye ga Uganda ekikola ku kuketta ekya CMI gye baasibwako emisango egitali gimu. Bannamateeka bano baagambye nti ekiseera kituuse amawanga amalala gayingire mu nsonga eno. Minisita Kuteesa yafulumya ekiwandiiko nga May 17 ng’agamba abantu b’e Rwanda abajja mu Uganda balina okukuuma amateeka n’agamba nti, omuntu yenna anaagamenya ajja kutwalibwa mu mbuga. Kyokka bannamatteeka bagamba nti abakwatibwa ne batatwalibwa mu kkooti, kkooti ne bwe ziragira baleetebwe ebiragiro tebissibwa mu nkola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...