TOP

Ab'ebibanja mukolagane n'abakulembeze-Museveni

Added 9th June 2019

Ab'ebibanja mukolagane n'abakulembeze-Museveni

 Pulezidenti Museveni ng'ali ku bikujjuko by'okukuza olunaku lw'abazira e Kasanje mu Wakiso

Pulezidenti Museveni ng'ali ku bikujjuko by'okukuza olunaku lw'abazira e Kasanje mu Wakiso

PULZIDENTI Museveni asabye ab'ebibanja okukolagana n'abakulembeze baabwe omuli ne bannabyabufuzi okulwanyisa ab'amattaka ababagobaganya ng'agamba nti ababagoba bakikolera bweru w'amateeka.

Ate akulira  abazirwanako mu lutalo lw'ekiyekera e  Luwero Haji Edrissa Sseddunga naye alopedde Pulezidenti Museveni nti abawagizi ba NRM babayigganya okufa mu Kampala n'emirirwano n'agamba nti omuntu okwambala akajoozi aka kyenvu bamuvuma okufa oluusi n'okumukuba. Ssedunga yewunyizza kino engeri gye kiyinza okubeerawo nga gavumenti ya NRM y'eri mu buyinza !.

Bino  babyogeredde  Kasanje okumpi n'e Ntebe mu disitulikiti y'e Wakiso bwe  babadde ku mikolo gy'okukuza olunaku lw'abazira ( June 9).

Ku lunaku luno mu 1981 e Luwero amagye ga Milton Obote eyali mu buyinza mu kiseera ekyo  kwe gatirumbulira abantu mwenda abaali abawagizi b'abayekera ba NRA Museveni be yali akulira  nga balwana okuggyako gavumenti kye batuukiriza mu 1986.

Ku mukolo guno abantu abasoba mu kikumi okwabadde n'eyali akulira ekibiina ky'abayekera ekirala ekyali kirwanyisa Obote ekya ‘'Uganda Freedom Movement'' omugenzi Dr. Lutakome Kayiira bawereddwa omudaali gw'obuzira

Era n'abavubuka be Wakiso kwe basinzidde okusaba  b Museveni aleme kuvuganyizibwa mu kakungunta ka NRM addemu yesimbewo ku bwa Pulezidenti mu 2021  kye yakkirizza n'assa omukono ku kipande kyabwe ekyabaddeko ebigambo ebyo.

Museveni yasuubizza nti oluguudo oluva e  Mpigi- Kasanje- Nakawuka okutuula e Kisubi ku lw'e Ntebe lugenda kukubwa kkolaasi. N'ayongera nti n'olw'e Busabala nalwo lwakukolwa. Yagambye nti waliwo n'entegaka z'okukola olutindo okuva e Ntebe okugenda e Nakiwogo. Yakunze abantu okweyambisa ebibanja byabwe n'ettaka okulima n'okulunda bave mu bwavu abatalina bakole emirimu emirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...