TOP

Abako bagudde ku kabenje okwanjula ne kusasika

Added 10th June 2019

Abako bagudde ku kabenje okwanjula ne kusasika

 Abakungubazi nga basabira abagenzi mu kuziika e Myanzi eggulo.

Abakungubazi nga basabira abagenzi mu kuziika e Myanzi eggulo.

OMUKOLO gw'okwanjula guyiise oluvannyuma lw'abooluganda lw'omugole omusajja okugwa ku kabenje, babiri okwabadde ne mwannyina w'omulenzi ne bafiirawo.

Abaafudde ye Nnaalongo Leah Nabakooza ng' ono y'abadde agenda okukola nga mwannyina omulungi ne Solome Namombwe be baafudde bwe babadde bagenda okuweerekerako mwannyinaabwe Francis Xavier Kazungu omutuuze w'e Ngoma.

Akabenje kaagudde Kakooge mu disitulikiti y'e Nakasongola abooluganda lw'omugole omusajja Kazungu bwe babadde bagenda okumusanga mu kifo we baabadde balina okusimbula boolekere e Ngoma mu disitulikiti y'e Nakaseke, kyokka mmotoka ey'ekika kya Ipsum mwe baabadde abantu musanvu n'etomera ente eyabadde esala ekkubo, babiri ne bafiirawo Emmotoka y'abadde evugibwa Arthur Luyinda mutabani w'omugenzi Namombwe nga ye yasimattuse n'ebisago eby'amannyi.

Nga tebannasimbula, baasoose kwekubya bifaananyi ku Bulondo Apartments e Kawempewe baakuhhanidde n'abantu abalala abaabadde bagenda ku mukolo. Mu mmotoka baabaddemu abooluganda musanvu ng'abataano be basimattuuse.

Kwabaddeko; Noeline Namata 49, muganda w'abagenzi, Shakirah Nakayemba, Sarah Nansaga, Emmanuel Mubiru ne Luyinda (ddereeva). Akabenje kaabaddewo ku ssaawa 8:00 ez'emisana ku Lwokutaano

ABAABADDE MU MMOTOKA BATTOTTOLA

Gyabadde miranga na kwaziirana ng'abooluganda n'abatuuze b'e Nabweru - Kibwa ng'emirambo gy'abooluganda bano ababiri gituusibwa mu maka gaabwe ku kyalo Lugoba.

Noeline Namata muganda w'abafu yagambye nti, baabadde batambudde bulungi nga bakira mukulu we omugenzi Nabakooza akutte sappule asaba. Yagambye engeri olugendo gye lwabadde oluwanvu, obwedda atera n'asumagira era nti yabade ng'aloota n'awulira Nabakooza agamba, Luyinda nti otomera ente!

"Luyinda yawugudde emmotoka kyokka nayo gye yagiwugulidde yasanzeeyo ente endala n'agitomera, emmotoka ne yeevulungula emirundi egiwera. Mu kiseera kino twabadde tulaajana nga bwe tuyita Yesu", Namata bwe yagambye. Abadduukirize baagenze okutuuka nga baganda bange bafu, ffe abaasimattuse twaddusiddwa mu kalwaliro akali okumpi nga tuli mu mbeera mbi.

Luyinda yaleeteddwa mu ddwaaliro e Mulago gy'ajjanjabirwa kuba yakoseddwa nnyo. Nakayemba (yasimatusse) muwala w'omugenzi Namombwe omukulu yagambye nti, "maama nga tannafa, twabadde ku mboozi y'akazannyo ka 'ASHOKA' akalagibwa ku Bukedde TV.

Bwe twamalirizza ne tudda ku ssappule." Nga balinga abategeedde nti bali mu ssaawa z'obulamu bwabwe ezisembayo ku nsi, wayiise eddakika ntono akabenje ne kabaawo. Nakayemba yayongeddeko nti, maama we ng'omuntu abadde wa kissa, ayagalizza era ayagalwa abantu ku kitundu kwe babadde babeera. Namombwe alese abaana babiri ate Nabakooza alese basatu.

Abagenzi bazaalibwa omugenzi Jonathan ne Melan Sserugo. BAAZIIKIDDWA MU KIGGYA KIMU Nabakooza ne Namombwe baaziikiddwa eggulo mu maka g'omugenzi Benzi ku kyalo Musaba mu ggombolola y'e Myanzi mudisitulikiti y'e Kassanda. Babadde basula bombi mu nnyumba emu e Lugoba era babadde basuubuzi mu Kampala.

Baasoose kusabirwa omusomesa w'ekisomesa ky'e Kasaana, Peter Matovu. Kwabadde kwaziirana ng'abooluganda bano baziikibwa eggulo ku Ssande. Abakungubazi baayogedde ku bagenzi nga bwe babadde abakkiriza, abakozi ate nga baagalana. Namombwe yatenderezeddwa olw'okukkiriza kw'abadde nakwo nga ne ku ssaawa envannyuma yafudde asoma ssappule.

Omusomesa Matovu yagambye nti, abagenzi babadde bawagira nnyo emirimu gy'ekisomesa ky'e Kisaana, nga buli lwe babadde badda eka nga babaako kye bokola. "Ne bwetubadde tuliko ebitateredde nga byetaagisa obuwagizi obwa ssente, babadde bawagira nnyo kyokka kisanyusizza nti, gye bavudde nayo tufunye obujulizi nti babadde bajjumbize mu Klezia," bwatyo bwe yagambye ne yeetonda olwa bafaaza abataasobode kubeerawo kubanga baayitiddwa bugenze.

Matovu yasabye abantu abali mu bibuga nti bajjukire ng'amasinzo gaabwe agali mu byalo nga bagawagira. Abagenzi babadde Bakristu mu kigo kya Jinja Kalooli mu ssaza ekkulu ery'e Kampala era nga tebannatwalibwa kuziikibwa baasoose kufuna Mmissa mu maka gaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...