TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabavvulu Balaam adduukiridde ab'e Masindi n'obukadde 30 zibayambeko mu kwekulaakulanya

Ssaabavvulu Balaam adduukiridde ab'e Masindi n'obukadde 30 zibayambeko mu kwekulaakulanya

Added 11th June 2019

Ssaabavvulu Balaam adduukiridde ab'e Masindi n'obukadde 30 zibayambeko mu kwekulaakulanya

 Balaam ng'ali n'abamu ku batuuze b'e Masindi nga bamwebaza okubeera n'omutima omugabi

Balaam ng'ali n'abamu ku batuuze b'e Masindi nga bamwebaza okubeera n'omutima omugabi

OMUTEGESI w'ebivvulu Balaam Barugahara awadde ab'e Masindi sente basobole okukola ku bizibu byabwe bye baategeezezza pulezidenti Museveni bwe yabaddeeyo ng'alambula enteekateeka za bonnabagaggawale.

Yawaddeyo obukadde 30 eri ebibiina ebyenjawulo e Masindi ne Hoima ng'omuwagizi wa Museveni n'agamba nti yalabye abantu nga basaba pulezidenti bwe yabadde akubye olukung'aana e Kyatiri Masindi omwezi oguwedde so n'alaba ng'asobola okukwasizaako pulezidenti okutuusa obuyambi bw'ensimbi zino eri abantu.

"Nkozesa sente zange okusasula abamu ku bantu bano kubanga bwe baabadde mu lukung'aana baamusabye okubayamba ne mmutegeeza nti obweyamo buno obumu nsobola okumuyambako okubutuukiriza" Balaam bwe yannyonnyodde.

Ofiisi ya NRM e Masindi yabawadde 5,000,000/- , aba Dove Football Club e Masindi n'abawa 1,000,000/-, Masindi Youth Cooperative baafunye 4,000,000/- Gilbert Nyadiri yeeyazikutte, Obulabirizi bwa Masindi Kitara 5,000,000/- zakwasiddwa Rev. Samuel Kwesiga, Kijuura market vendors 2,500,000/-, Zam Atuhairwe yakutte eza Kirasa market vendors 2,500,000/-, Booma Football Club 1,000,000/- n'omuzikiti gwa Masindi Town Mosque 5,000,000/ baazikwasizza Kasim Mugisa-

Aba ofiisi ya NRM e Masindi baali bategeezezza pulezidenti nti bababanja sente z'okupangisa ofiisi obukadde mukaaga era ku zino Balamu yasasuddeko obukadde butaano ng'amaze okukwatagana ne Kabakumba Masiko sentebe wa NRM e Masindi n'agamba nti akikola ku lwa pulezidenti n'abantu b'ekitundu gy'asibuka

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...