TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakyala b'e Kirinnyabigo batabukidde mu lukiiko lwa kubayita bacaafu

Abakyala b'e Kirinnyabigo batabukidde mu lukiiko lwa kubayita bacaafu

Added 12th June 2019

'Abaami bakukkuluma olw’abakyala babwe okuba abacaafu ekivuddeko okudduka awaka ne babalekera abaana.'

 Rosete Ganja ng'abuulirira abakyala mu lukiiko.

Rosete Ganja ng'abuulirira abakyala mu lukiiko.

BYA WASSWA B. SSENTONGO.

ABAKYALA ku kyalo Kirinnyabigo e Kawanda mu Ggombolola y'e Nabweru mu disitulikiti y'e Wakiso batabukidde mu lukiiko bwe babalangidde obucaafu ekivuddeko abaami baabwe okubasuulawo. Nabo beewozezzaako nga bwe babalekera ssente z'akameeza entono.

Baabadde mu lukiiko olwakubiriziddwa akulira ensonga z'abakyala ku kyalo kino, Rossete Ganja Afrigo nga lwagendereddwa okubuulilira abakyala ku ngeri gye bayinza okweyisaamu mu bufumbo bwabwe.

Ganja bw'abadde abuulirira abakyala abalumirizza okuba abacaafu ng'emisango mingi egijja mu ofiisi ye egisinga abaami bakukkuluma olw'abakyala babwe okuba abacaafu ekivuddeko okudduka awaka ne babalekera abaana ate ng'abasinga bayomba ekisusse ng'abaami bakomawo awaka nga bakooye ate abakyala ne batandika okubayombesa nga kino nakyo kivuddeko abaami okudduka awaka.

Yagambye nti abakyala bangi tebeefaako kweyonja n'avumirira abakyala abasiiba mu lugoye olumu olunaku lulamba n'agamba nti kino kiraga bucaafu era n'abasaba okuwa abaami baabwe emirembe.

Wabula abakyala abaakulembeddwaamu Pevin Namukwaya mu kwewozaako nabo baalumirizza abaami babwe obutabalekera ssente za kameeza kyokka ng'abasinga tebalina mirimu gye bakola ng'abaami abasinga baleeka 5,000/- kyokka bagenda okuzitetenkanya nga tewali ze basigazaako ng'abakyala abasinga bwe babalekera ssente basobola okusigazaako olwo ne bagulako n'ebizigo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...