
Kafeero ng'ayogera eri abatuuze ku kisaliddwawo ku byuma ebizimbiddwa e Kangulumira
ABATUUZE batabukidde omugagga eyazimbye ebyuma bibiri wakati mu mayumba gaabwe.
Vicent Ouma ye yazimbye ebyuma okuli ekisunsula omuceere n'ekikuba obuwunga.
Baabimugobezza era ne beerayirira obutamukkiriza kubiggulawo kubanga bijja kuleeta enjatika mu mayumba gaabwe n'obuwunga okubafumuukira.
Baasoose kutuula mu lukiiko ne Collins Kafeero avunaanyizibwa ku mbeera z'abantu ku disitulikiti e Kayunga eyazze n'abalungamya amateeka abalala abatuuze ne babalaga obulumi bwe balimu.
Ebyuma yabizimba mu zooni ya Kibira mu tawuni y'e Kangulumira mu disitulikiti y'e Kayunga.
Kafeero yayimirizza ebyuma bino obutaggulawo kubanga biri wakati mu mayumba g'abatuuze.
Agambye nti ebizimbe asobola okubikoleramu bizinensi endala naye ebyuma babigaanye.
Omugagga Ouma olukiiko yalwebalamye era n'abaamukiikiridde baagaanye okwogera ku nsonga zino.