TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'akakiiko k'eddembe ly'obuntu baleppuka na gwa kubulankanya ssente za Gavt.

Ab'akakiiko k'eddembe ly'obuntu baleppuka na gwa kubulankanya ssente za Gavt.

Added 13th June 2019

ABAKUNGU bataano ab’akakiiko k’eddembe ly’obuntu basimbiddwa mu kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi ne bavunaanibwa okukozesa obubi ofiisi zaabwe.

 Atieno (ku kkono), Nassuuna (wakati) ne Wamala nga bali mu kkooti.

Atieno (ku kkono), Nassuuna (wakati) ne Wamala nga bali mu kkooti.

Bya MARGRET ZALWANGO
ABAKUNGU bataano ab'akakiiko k'eddembe ly'obuntu basimbiddwa mu kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi ne bavunaanibwa okukozesa obubi ofiisi zaabwe.
 
Wilfred Asiimwe Muganga, Tadeo Wamala, Rebecca Nassuuna, Willy Agirembabazi ne Rebecca Agnes Tino nga bonna bakungu b'akakiiko aka Uganda Human Rights Commission be baasimbiddwa mu kkooti mu maaso g'omulamuzi Pamela Lamunu ne basomerwa emisango okuli okukozesa obubi ofiisi zaabwe, okubulankanya ensimbi, n'okwekobaana okubba ssente za gavumenti.
 
Okusimbibwa mu kkooti, kiddiridde akakiiko akalwanyisa enguzi akakulirwa Lt. Col. Edith Nakalema okubakwata oluvannyuma lw'okukizuula nti enkola y'emirmu gyaabwe erimu ebirumira.
 
Kigambibwa nti bano wakati wa August ne November 2018 baggyayo obukadde 25 ne baziteeka ku akawunti ey'obwannannyini eya Rebecca Tino nga bagamba za kukola mirimu gya kitongole kyokka nga balimba.
 
Baagenda mu maaso ne baggyayo ssente endala obukadde 25, obukadde 40, n'obukadde butaano buli omu ze beegabira ng'ate zaalina kukola mirimu gya gavumenti.
Nga bayita mu looya waabwe, Caleb Mwesigwa baasabye omulamuzi abakkirize okweyimrirwa era ne baleeta ababeeyimrira.
 
Omuwaabi wa gavumenti Marion Acio yasabye kkooti ebagaane okudda mu ofiisi kyokka kino omulamuzi yakigaanye.
 
Omulamuzi Lamunu yabakkirizza okweyimrirwa n'abayimbula ku kakalu ka kkooti ka bukadde butaano buli omu ze yabalagidde okusasula mu bbanka, abaabeeyimiridde obukadde 50 ezitali za buliwo n'abalagira n'okuwaayo paasipooti zaabwe mu kkooti.
Omusango gwa kudda mu kkooti nga July 11.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...