TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri dokita gye yagaanye okujjanjaba omulwadde n'afa lwa kulemwa kumuwa 350,000/-

Engeri dokita gye yagaanye okujjanjaba omulwadde n'afa lwa kulemwa kumuwa 350,000/-

Added 13th June 2019

Nalabye obulumi omuwala bwe yabadde ayitamu ne nkaaba mu maaso g’omusawo eyabadde atunuulira omwana wange ng’alumizibwa kyokka ng’abalaata.

 Omubaka Nabakooba ng'ayogera mu lumbe lwa Nabakooza (mu katono).

Omubaka Nabakooba ng'ayogera mu lumbe lwa Nabakooza (mu katono).

Bya Sofia Nalule

Dokita mu ddwaaliro lya Gavumenti erya Mityana General Referral Hospital yagaanyi okulongoosa omulwadde gwe babadde bamaze okwekebejja bwe yasabye nnyina ssente 350,000/- nga tazirina era n'afa obulumi ng'abasawo batunula.

Sylvia Nantongo 19, yagenze ne nnyina Joyce Nantale mu ddwaaliro kyokka n'afa olw'okubulwa ssente abasawo ze baamusabye. Bano abatuuze e Mutetema mu ggombolola y'e Kalangaalo mu disitulikiti y'e Mityana. Omugenzi yalese omwana omu Moreen Nakibirige ow'emyezi omusanvu.

Nantale mu kuziika muwala we attottodde bw'ati ebyabaddewo: Ku Lwokubiri twagenze mu ddwaaliro eddene nga muwala wange alumizibwa mu lubuto.Waliwo omusawo gwe twasoose okulaba n'atusindika mu sikaani.

Twavuddeyo ne tuweebwa ekitanda oluvannyuma lw'okututegeeza nti omulwadde ekyenda kyabadde kyesibye nga yeetaaga kulongosebwa.

Ebbaluwa gye twafunye twagiwadde dokita omu eyatusanze ku kitanda okulindirwa abasawo ne yeeyama okutuyamba, naye aliko essimu gye yasoose okukuba olwagimalirizza n'atutegeeza nti gwe yakubidde waakutukolako nga tumaze kusasula 350,000/-.

Nalajanye nga ssente bwe zaabadde ennyingi nga tetuzirina n'anziramu ng'abalaata nti, "ate mwanguye ssente omulwadde tumukoleko tafa". Nnegayiridde omusawo okukola ku mulwadde nga bwe nnoonya ssente n'agaana, n'asaba nsooke muweeko emitwalo 50,000/- ne nzimuwa, omulwadde n'amussaako eccupa y'amazzi ne Dokita n'ajja n'atuggyako omulwadde n'amutwala mu kasenge omulongosezebwa.

Natuseeyo Dokita n'addamu okumbuuza ssente ze yansabye oba zituuse nga teziriiwo n'ansaba ennamba y'essimu ayogere ne be nnabadde nsaba ssente kyokka nnabadde ngimuwa n'agaana.

Nalabye obulumi omuwala bwe yabadde ayitamu ne nkaaba mu maaso g'omusawo eyabadde atunuulira omwana wange ng'alumizibwa kyokka ye ng'abalaata.

Bwe nakaabye ennyo yennyudde n'asaba emitwalo emirala 50,000/- nti amutandikeko ne nzimuwa ne nsigalirawo.Yagenze okuleeta giraavuzi nga bw'annyimbirira nga bwe nnina okumuwa ssente ze. Oluvannyuma nakubidde Ismail Walusimbi ow'ebibira e Mityana eyannyambye n'andeetera 200,000/- ne nziwa omusawo ye n'assaako okwegayirira Dokita azikkirize engeri gye zaabadde zitaweze.

Nga ndi wabweru nga dokita ali mu ddirisa ly'eddwaaliro twetunuulidde  bantumye wuzi ne nzigula emitwalo 20,000/- ne bansaba ntegeke emitwalo emirala 50,000/- ez'okugula eddagala ng'omulwadde avudde mu sweeta. Mu ddakiika ntono dokita yoomu yansemberedde n'antegeeza nti ' nga kitalo, ggwe muzadde wa Nantongo? Ne muddamu nti ye nze, era ne mubuuza oba omwana baabadde bamulongosezza, kyokka ng'afudde. Dokita yannyanukudde n'antegeeza ng'ensobi bwe yabadde eyange okulwawo okumuwa ebyetaago bye yali yasabye ng'omuwala yabadde alina okufa.

Nakambuwadde ne mmutegeeza nti, "omwana wange ke musanga ng'afudde ate ng'omulambo guliko ebiwundu nze naawe," kwe kumboggolera nti okumala akajanja omulambo kangusse mu ggwanika olwo ate ne nfukamira ku maviivi antaase nneme kwongera ku bajeti ya ssente.

Olwangambye ebyo ne yeemulula n'abula. Abasawo balala be baaleese ebbaluwa egendera ku mulambo kyokka nayo n'ebulira mu ddwaaliro.

Judith Nabakooba omubaka ( omukazi) ow'e Mityana bwe yabadde mu kuziika yategeezezza abakungubazi ng'eddwaaliro bwe lirimu ebikolwa ebitategeerekeka olw'okwemulugunya okuva mu bantu kwe bafuna okuli okubaguza eddagala, abakyala abafa mu ngeri etategeerekeka, ebyuma ebibula mu ddwaaliro, okukambuwalira abalwadde n'ebirala wabula nga ku bikolobero byonna tewali alipoota abasawo gye bawa babaka ba palamenti.

Yategeezezza nga bwe waliwo n'amasimu agaamukubiddwa nga gamulabula okwesonyiwa ensonga z'okufa kwa Nantongo okwewala okunyiiza abasawo.

 Haji Haruna Nziiza Kibirige ssentebe wa NRM e Mityana yenyamidde lwaki Gavumenti essa eddagala mu ddwaaliro ne libulira mu makubo amalala eddwaaliro lyeetaaga kulongoosa oba n'okukyusa obukulembeze.

Olukiiko olw'amangu olwatuuziddwa ku ddwaaliro olwetabiddwaamu abakulira eddwaaliro abaakulembeddwa Vincent Kawooya, akulira abakozi ku disitulikiti, James Nkata, ssentebe Joseph Luzige, RDC Isha Ntumwa n'abalala. Nga luyita mu mwogezi wa disitulikiti, Edward Muganga lwategeezezza nti omusawo eyeenyigidde mu kikolwa kino anoonyezebwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...