TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ne LDU bakukunudde abavubuka n'abaana 14 mu mwala gwa Nakivubo

Poliisi ne LDU bakukunudde abavubuka n'abaana 14 mu mwala gwa Nakivubo

Added 13th June 2019

POLIISI ya CPS n’aba LDU ekoze ekikwekweto mu mwala gw’e Nakivubo mw’ekwatidde abavubuka n’abaana abeekwekayo 14 nga bateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

 Abamu ku bavubuka n’abaana abaakwatiddwa okuva mu mwala.

Abamu ku bavubuka n’abaana abaakwatiddwa okuva mu mwala.

Bya ERIA LUYIMBAZI
POLIISI ya CPS n'aba LDU ekoze ekikwekweto mu mwala gw'e Nakivubo mw'ekwatidde abavubuka n'abaana abeekwekayo 14 nga bateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka.
 
Kino kiddiridde poliisi okufuna amawulire nga bwe waliwo abavubuka abagumba mu mwala guno okumpi ddala n'omulyango oguyingira mu katale ka St. Balikuddembe ne bakommonta enjaga n'okuteegerawo abantu ne babasala ensawo.
 
Amyuka owogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, poliisi eyakulembeddwaamu akulira poliisi y'e Nakivubo, Caleb Asiimwe n'aba LDU, baayingidde omwala gw'e Nakivubo ne bakwata abavubuka 16 okuli n'abaana abatannaweza myaka 13 nga bonna kiteeberezebwa nti babadde beenyigira mu bumenyi bw'amateeka.
 
Yagambye nti abavubuka bano olutindo oluyingira mu katale ka St. Balikuddembe okuliraana essomero lya Nakivubo Settlement babadde baatuumawo ku ‘Bamuda' okulaga nti tewazannyirwawo ate ng'abalala baddukira mu mufulejje gwe baatuuma ‘Nile' nga guno guyita wansi w'ebizimbe by'akatale wabula abaserikale baasobodde okubakukunulayo.
 
Yategeezezza nti amawulire poliisi ge yafunye nti, mu katundu abavubuka we baabakwatidde batusizaawo enjaga okugisuubuza n'okuginywa era nga be baakutte
bagenda kubayamba okubatuusa ku baginywa n'abagireeta.
 
Yagambye nti abavubuka abaakwatiddwa baatwaliddwa ku poliisi ya CPS ne babasunsulamu ne basigaza abo abakulu okwongera okubanoonyerezaako.
 
Yagasseeko nti okuva aba LDU lwe baakwatagana ne poliisi wabaddewo ebikwekweto mwe bakwatidde abagambibwa okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka abawera era nga mu bitundu ebimu obumenyi bw'amateeka bukendedde ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...