TOP

Poliisi ekutte abagambibwa okubbira mu takisi

Added 15th June 2019

Poliisi ekutte abagambibwa okubbira mu takisi

POLIISI ya Kampala Road mu Kampala ekutte abavubuka babiri abagambibwa okubbibwa oluvannyuma lw'omusaabaze okubalumiriza okwagala omubba bweyalinnye Takisi nga agenda bweyogerere.

Abaakwatiddwa kwabaddeko Umaru Ssekandi 25 ne Arnold Ssennyonyi nga bonna batuuze b'e Mukono era nga bano okukwatibwa kyaddiridde Frank Ssettimba okubalumiriza okumukwata akabadiya mu takisi nga baamusaba abawe ssente.
 
Okusiziira ku nsonda mu poliisi zategeezza nti Ssettimba yanyonnyodde nti nga bweyalinnye Taxi nnamba UAY 030V nga adda mu bitundu by'e Bweyogerere kyokka baabadde baakatambulako katono ne batandika okumukanda ssente n'ekyavudde kutandika kulwanagana na Ssennyonyi nga Ssekandi bw'avuga okukkakana abantu kwekutemya ku poliisi eyazze okutaakiriza kwekukwata Ssennyonyi ne Ssekandi abaabadde bagambibwa okuba ababbi.
 
Bano olwabadde okutuusibwa ku poliisi,Ssettimba n'abalumiriza okwagala okumuttira mu Taxi bamutwaleko ebintu bye omwabadde essimu ne ssente z'ataayogedde muwendo.
Ssettimba olwamaze okukola sitetimenti n'agenda era Ssettimba ne Ssennyonjo ne bongerwayo ku poliisi ya CPS mu Kampala era nga baguddwako omusango gw'obubbi oguli ku fayiro nnamba SD Ref:19/13/06/2019.
 
Wabula wadde nga bano Ssettimba yabalumirizza bo baamwegaanye ne bategeeza nga bwebaabadde tebannamulaba era ne bategeeza nga ono bweyabadde abawaayiriza wadde nga Ssennyonyo yabadde ajjudde omusaayi ekiraga nti waabaddewo akanyoolagana.
 
Ye ayogerera poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owesigire bweyatuukiriddwa ku nsonga eno yategeezezza nga bwebagenda okukola okunoonyereza okuzuula ekituufu ku nsonga zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...