TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amagye ne Poliisi batandise okunoonyereza ku ssente ezigambibwa okubulankanyizibwa abakungu ba Banka enkulu

Amagye ne Poliisi batandise okunoonyereza ku ssente ezigambibwa okubulankanyizibwa abakungu ba Banka enkulu

Added 16th June 2019

Amagye ne Poliisi batandise okunoonyereza ku ssente ezigambibwa okubulankanyizibwa abakungu ba Banka enkulu

EBITONGOLE by'ebyokwerinda byongedde okuteeka akazito ku banene ba Bbanka Enkulu, ab'ekitongole ekikola ku ntambula y'ennyonyi ku kisaawe e Ntebe, wamu n'abekitongole ekisolooza emisolo, ekya URA.

Kino kiddiridde okufuna amawulire nti, abanene bano, balina ssente ze baakukusizza ku nnyonyi bwe yabadde ereese ssente za Bbanka Enkulu okuva mu ggwanga lya Bufalansa eziwera obuwumbi 350.

Abamu ku bakungu abali mu kattu kuliko avunaanyizibwa ku by'okukubisa ssente Julie Piloya, Milton Baluku, Francis Kakeeto, Simon Zaribugire, Baker Kikabi, Fred Wanyama, Carol Nankabirwa n'abalala.

Omwogezi wa Gavumenti, Ofwono Opondo, yagambye nti ng'oggyeeko ssente entongole obuwumbi 350, abanene bano baliko ssente endala ze baaleetera ku nnyonyi eno kyokka bwe babuuzibwa ab'oku kisaawe ne bategeeza nti gyali migugu gyabwe.

Okusooka Ofwono yategeezezza nti, tewali ku banene omunaana abanoonyerezebwako, yakwatiddwa. Okunoonyereza kuno kwatandika ku Lwakusatu lwa wiiki eno, nga kukolebwa ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango (CID) ekikulirwa AIGP Grace Akullo, ne Lt. Col. Edith Nakalema, akulira ekitongole kya State House, ekirwanyisa obulyake (State House Anti-Corruption Unit).

Oluvannyuma Pulezidenti yalagidde ebitongole by'amagye, okuli ISO ne CMI, nabo okweyunga mu kunoonyereza. Kigambibwa nti, Gavana wa Bbanka Enkulu, Polof. Tumusiime Mutebire, olwategeezebwa ku nsonga eno naye kwe kugitegeeza ku Pulezidenti eyalagidde abateeberezebwa okunoonyerezebwako.

Ensonda mu bitongole ebinoonyereza zaategeezezza Bukedde, nti ku bitereke 20 ebyali birina okujjira ku nnyonyi, kwaliko ebirala bitaano (5) kyokka ng'abali emabega w'ekikolwa kino, tebamanyiddwa.

Kigambibwa nti ennyonyi okwajjira ssente za bbanka ate waliwo emigugu gy'obwannannyini egyaliko ng'egimu gy'ali gya kibiina kya Amerika ekigaba obuyambi ekya USAID, ekya Mandela Millers, Amptech (U) Ltd, Charles Mbiire n'abalala. Amagye ne poliisi baatandise okwekenneenya entambi ezaakwatibwa ku kisaawe e Ntebe, okuzuulira ddala b'ani abaanona ebitereke bya ssente ebitaano.

Abagambibwa okuba nga baakwatiddwa bakuumirwa ku kitebe kya CMI, e Mbuya. Kinajjukirwa nti lipoota ya Palamenti eyakolebwa omubaka Abdu Katuntu ne banne yalaga nti emivuyo mingi egiri mu Bbanka Enkulu, era n'alaga nti n'ebyokuggala bbanka y'omugagga Sudhir Ruparelia (Crane Bank), n'endala, kyakolebwa mu bukyamu. Abakwatiddwa bakutwalibwa mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...