TOP

Bawawaabidde ab'e Mukono lwa bajeti

Added 17th June 2019

Bawawaabidde ab’e Mukono lwa bajeti

 Sipiika Mbonye (ku ddyo) ne Muyanja (owookubiri ku kkono) mu kkanso gye buvuddeko.

Sipiika Mbonye (ku ddyo) ne Muyanja (owookubiri ku kkono) mu kkanso gye buvuddeko.

BINTU byonoonekedde olukiiko lwa disitulikiti y'e Mukono, sipiika waayo, ssentebe n'akulira abakozi ba gavumenti (CAO) bwe bakubiddwa mu mbuga ng'entabwe eva ku kulemererwa kuyisa bajeti y'omwaka gw'eby'ensimbi 2019/2020 mu budde obulambikiddwa mu mateeka agafuga gavumenti ezeebitundu.

Sipiika Emmanuel Mbonye, ssentebe Andrew Ssenyonga ne CAO George Ntulume be bawawaabiddwa ng'abantu ssaako kkanso ng'ababawawaabidde kuliko bassentebe b'amagombolola okuli ow'e Nakisunga, Mubarak Ssekikubo, ow'e Nama Erisa Ssebbaale n'ekitongole ky'obwannannyini ekya Advocate for Human Rights, Peace and Development (AHUPED).

Omusango gwaloopeddwa mu Kkooti Enkulu e Mukono nga June 6, 2019 bannamateeka b'abawaabi aba Nsubuga K.S and Company Advocates. Kkooti yawadde olwa nga October 29, 2019 okutandika okuwulira omusango guno. Mu kiwandiiko kye baawaddeko abawawaabirwa, abawaabi baasabye kkooti okuyisa ekiragiro abawawaabirwa okuyita kkanso ya disitulikiti bayise embalirira.

Bano era baagala kkanso erangirire nti CAO Ntulume ne ssentebe Ssenyonga okuyita mu mateeka agafuga gavumenti ezeebitundu akawaayiro 243 baaleetedde disitulikiti y'e Mukono okuweesebwa engassi ya buwumbi 9 okuva ku bajeti ey'obukadde 44 na buli kati etennaba kuyisibwa sso ng'etteeka ligamba nti disitulikiti tezirina kusukka May 31, nga tezinnayisa mbalirira zaazo.

Era basabye kkooti erangirire nti ssentebe Ssenyonga talina busobozi, munafu, tamanyi by'akola ssaako era tasaanidde kuba ssentebe wa disitulikiti. Bukedde yatuukiridde sipiika Emmanuel Mbonye ku Lwokutaano mu ofiisi ye, n'akakasa okufuna kkopi y'ekiwandiiko mwe baabaloopedde.

Wabula yagambye nti ye yakola buli kyali mu busobozi bwe okulaba nga kkanso etuula bajeti eyisibwe omuli okuwandiikira CAO Ntulume asobole okuyita kkanso mu budde naye n'atamufaako wadde okumuddamu mu buwandiike. Ye ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono, Andrew Ssenyonga bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti bajeti yayisibwa era n'agamba nti yeewuunya Mbonye okuvaayo n'ategeeza ensi nga bw'etayisibwanga.

Wabula Mbonye ebyo yabisambazze n'agamba nti bajeti teyisibwangako kuba ssentebe yayita lukiiko okubuuza bakansala kiki ekyali kirina okukolebwa okusobola okuyisa bajeti nga May 31, ekiro ekitakkirizibwa ne mu mateeka ate n'amala n'agamba nti baayisizza bajeti ekitali kituufu.

Kinajjukirwa nti kanso eyayitibwa okuyisizaamu bajeti nga May 28, yayiika omu ku bakansala, akiikirira eggombolola y'e Nama, Fred Musonge bwe yavaayo n'ategeeeza ng'emitendera bwe gyali gitagobereddwa bulungi okulaba nga kkanso etuuzibwa mu mateeka.

Bwatyo sipiika Mbonye yakola nga Musonge bwe yasaba n'ayimiriza kkanso n'asaba nti eriddamu okuyitibwa ng'amateeka gagobereddwa omuli okuwa bakkansala obubaka obubayita mu kkanso n'ebiwandiiko by'ebinaateesez-ebwako nga waakiri ebulayo ennaku 7.

Wabula nga May 31, ssentebe wa disitulikiti yatuuza bakkansala ekiro ku disitulikiti omwali ne sipiika Mbonye wakati w'essaawa 1:30 -2:30 era bwe baafuluma ne bagamba nga bwe baali bayisizza bajeti ekiwakanyizibwa enjuyi ez'enjawulo.

Mu kiseera kino emirimu mu disitulikiti y'e Mukono gyolekedde okusannyalala olw'okubulwa ensimbi ezinaakola ku pulojekiti ezaabadde zibaliriddwa okukolebwako mu mbalirira omuli ebyobulamu, ebyenjigiriza, okusitula embeera z'abantu n'ebirala bingi.

Wabula mu kwogerako ne ssentebe w'akabondo k'ababaka ba palamenti abava mu Buganda era nga y'akiikirira Mukono South mu palamenti, Johnson Muyanja Ssenyonga, yasabye abakulembeze abagugulana okutuuka ku kukkaanya kuba bbo abantu ababalonda baabasuubiramu buweereza.

Muyanja Ssenyonga yaagambye nti emirimu gigenda kukaluba nnyo ssinga bajeti eneeba nga ddala teyayisibwa kyokka n'akakasa nti ye bwe yabadde ayogera ne ssentebe Ssenyonga yamugambye nti baagiyisa dda ng'amateeka bwe galagira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...