TOP

Eyalumbye owa difensi akwatiddwa

Added 17th June 2019

Ono omusango gw’okutta agwegaanye ng’agamba yabadde agenze kumukangamu.

 Amaka ga Muwanga Kabuuma (mu katono waggulu ge yalumbye.)

Amaka ga Muwanga Kabuuma (mu katono waggulu ge yalumbye.)

Bya  MOSES LEMISA
 
 
AKULIRA ebyokwerinda mu Mini Triangle asimattuse okufa bwe baamulumbye mu maka ge mu matumbibudde. Meddi Kabuuma 23,  akola fuleemu z'entebe omutuuze mu Mini Triangle zooni  mu muluka gwa Makerere I e Kawempe kigambibwa nti mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano  yalumbye amaka ga Umar Muwanga omu bakulira ebyokwerinda mu Kitundu ng'amulanga  okuyoolanga abavubuka  b'omu kibinja kye. Baamulumirizza okwagala okutta Muwanga.
 
Ono omusango gw'okutta agwegaanye ng'agamba  yabadde agenze kumukangamu.
 
 "Afande amazima difensi atumazeeko emirembe buli kiseera atuwendulira obuserikale ne butuyoola kale eky'okulumba okuwolera si kyegaana naye nabadde sigenda kumutta obuzibu bwe nakoze kulumba maka ge ekiro. Ky'alina okumanya nti e Luzira  bansibiddeyo nnyo sirina kye ntyayo ate nja kuvaayo nzire ku kyalo "Kabuuma bwe yeeweredde  Muwanga.    
 
 uwanga Muwanga

 

John Kalyowa yategeezezza nti Kabuuma okulumba amaka ga Muwanga yabadde amaliridde okumutta kuba yabadde n'ebissi  era ekyayambye  Muwanga  teyabaddemu mu nju yabadde n'abaserikale nga balawuna ekitundu.
 
Yagambye nti Kabuuma yasoose najja ku ssaawa 5:00 ez'ekiro n'abuuza abaana  kitaabwe gyali ne bamuddamu nti tebamanyi gy'alaze naddayo 
 
Yagasseeko nti Muwanga yazzeeyo ku  ssaawa 9:00  ez'ekiro abatuuze ne bamutaayiizza ne bayita poliisi  n'emukwata.
 
Umar Muwanga   gwe baalumbye yagambye  nti  Kabuuma  mwana nzaalwa ya mu kitundu ng'azze yeenyigira mu bumenyi bw'amateeka obw'enjawulo n'atwalibwa mu kkooti n'avunaanibwa wabula olukomawo n'atandikira we yakoma. 
 
Kabuuma alina ekibinja ky'abavubuka  abamenyi  b'amateeka   ng'abamu bava mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo  ng'enjaga baginywa mu budde bwa makya, ssaawa 7:00 n'akawungeezi.
 
Yagasseeko nti ekiro basalako enguudo okuli  olwa  Binaisa, Bombo Road, Mawanda Road ne bakuba abantu ng'abamu bambala engoye ezisoba ssatu  n'ekigendererwa ky'okukyusa nga bamaze okubba.
 
Kabuuma yagguddwaako omusango  ku fayiro nnamba SD REF:02/14/06/2019

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abaserikale musse ekitiibwa...

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda...

Omusomesa ng'akebera omuyizi corona virus.

Minisitule y'ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka mu birina okusomesebwa abayizi ba P7 abazzeeyo ku masomero n’ab’ebibiina...

Zzimula n'embuzi ze.

EMBUZI GYE BAMPA MU MUSOMO ...

ZZIMULA , mutuuze w’e Busega Kibumbiro zooni B mu munisipaali y'e Lubaga mu Kampala. Muluunzi wa mbuzi era yazizimbira...

Aikoru n'abaana baabadde atulugunya.

Abadde asuza abaana mu kaab...

OMUKAZI Juliet Aikoru ow’e Kazo Angola akwatiddwa ng’abadde amaze ebbanga ng’atulugunya abaana ba muggyawe be yalekera...