TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda ky'embaawo e Bwaise

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda ky'embaawo e Bwaise

Added 17th June 2019

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda kyabwe nga bagamba nti ku Lwomukaaga yabalabula n’abagamba nga bwe batagenda kukolera mu kifo ekyo kubanga bafuumuuliza abayizi obukuta obuva ku mbaawo.

 Abasuubuzi nga batunuulira emmaali yabwe eyayidde.

Abasuubuzi nga batunuulira emmaali yabwe eyayidde.

 

BYA  ROSEMARY NAKALIRI

ABASUUBUZI abakolera mu Industrial Area e Bwaise bali maziga olw'omuliro ogutannategeerekeka gye gwavudde okukwata emmaali yaabwe n'esaanawo ku ssaawa 8:00 ogw'ekiro.

Bano balumiriza omukulu w'essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w'okwokya ekibanda kyabwe nga bagamba nti ku Lwomukaaga yabalabula n'abagamba nga bwe batagenda kukolera mu kifo ekyo kubanga bafuumuuliza abayizi obukuta obuva ku mbaawo.

Bongeddeko nti Tekana yabaleeterako abafere abeeyita  abakozi ba KCCA ne babalagira okuyimiriza okukola okutuusa nga bagonjodde ensonga, kyokka bano baasalawo okwekubira enduulu ewa Town Clerk, Moses Sunday ku Lwomukaaga n'abategeeza  nga ye bw'atakimanyiiko era n'abalagira okuddamu okukola emirimu gyabwe.

Akulira abakozi ku kibanda kino yeesitudde n'agenda ku Biral okulaba omukulu w'essomero lino boogere naye tebaamusanzeewo wabula oluvannyuma lw'akaseera yazze kyokka olwatuuse yatandise na kuboogerera bisongovu n'okubalabula okumugendako empola kuba alina obulamu bw'abaana bangi obuli mu mikono gye tebamuwaliriza kukola kyajja kwejjusa obulamu bwe bwonna.

Bano basabye gavumenti okuvaayo ebayambe kuba beewola looni okutandikawo emirimu gyabwe kyokka nga babadde tebannasasula ssente kuzimalayo nga tebamanyi w ebagenda kutandikira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo