TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusajja akwatiddwa ku by'okufera bafaaza b'e Gayaza

Omusajja akwatiddwa ku by'okufera bafaaza b'e Gayaza

Added 18th June 2019

Omusajja akwatiddwa ku by’okufera bafaaza b’e Gayaza

OMUSAJJA akwatiddwa ku by'okufera bannaddiini ng'abaggyako ssente. Faaza Jude Makanga Bwanamukulu w'ekigo ky'e Gayaza mu Wakiso aludde ng'afuna okwemulugunya okuva mu bannaddiini okuli ababiikira ne bafaaza mu kigo ky'e Gayaza ku musajja abadde agenda gye basula n'abakaabira ebizibu ne bamuwa ssente, kyoka nga buli faaza amubuulira emboozi ya njawulo.

Omusajja ono eyeeyita Martin Kawooya omutuuze w'e Kyankima, Kasangati, yasooka kutuukirira Faaza Makanga n'amutegeeza nti alina obuzibu awaka m'omukyala nga yasooka mu LC1 naye bwe baatuukayo n'amwegaana nti tamumanyi kyokka nga mu bufumbo bamazeemu emyaka 25.

Kigambibwa nti yatuuka n'okukaabira mu ofi isi ye ng'agamba nti ensi emunyiye agenda kwetuga kubanga yazaala abaana bataano abana ne bafa kyokka omuwala eyasigalawo yeegatta ne nnyina era bamutulugunya nga talina waakulaga.

Faaza ayamuwa ssente ng'amutegeezezza nti agenda kusengukira Mitala Maria. Oluvannyuma yanyumizaako bannaddiini abalala mu kigo nabo ne bamutegeeza nti yabatuukirira ng'abanyumiza emboozi ezaagala okufaanana.

Ku Mmande Faaza yafunnye essimu okuva ku klezia ya Our Lady of Counsel Gayaza ng'ayagala kufera. Bwe yakwatiddwa kwe kubagamba nti obwavu bubadde bumutawaanya ng'anoonya ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...