TOP

Bajjo asindikiddwa Luzira.

Added 18th June 2019

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

 Bajjo mu kkooti

Bajjo mu kkooti

Omutegesi w'ebivvulu era nga munnakisinde kya 'people power' Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo owa Bajjo Events byongedde okumwonoonekera.

Asindikiddwa mu kkomera e  Luzira okutuusa Olwokubiri lwa wiiki ejja nga July 25, 2019.

Kino kidiridde omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Stella Amabiris okumusomera emisango ebiri okuli ogw'okukuma omuliro mu bantu n'okwogera ebigambo ebigendereddwamu okunyiiza omukulembeze w'eggwanga (offensive communication).

Okusinzira ku ludda oluwaabi kigambibwa Bajjo yakuma omuliro mu bantu mu bitundu bya Kampala, Masaka ne Mbarara ng'ayita mu katambi ke yateeka ku ‘social media'.

Wabula wabaddewo okusika omuguwa wakati wa munnamateeka we,  Loadi meeya Erias Lukwago n'omulamuzi amangu ddala nga Bajjo bamaze okumusomera omusango ogw'okubiri,

Lukwago bwagambye nti omuntu we ebimubuuziddwa abadde tabitegedde bulungi olw'ebigambo omutaputa abadde mu kkooti byakozesa okuvvunula omusango gwa ‘Offensive communication' mu lulimu Oluganda ebitali bituufu era nti bibuzaabuziza Bajjo.

Wano asabye omulamuzi bafune omukugu mu lulimi Oluganda ataputire bulungi omuntu we ekigambo ‘Offensive communication' atitegeere aleme kukirizza musango gwatategedde,

kyokka omulamuzi asoose kugaana ng'agamba Bajjo buli kimu abadde akitegeera bulungi kyokka oluvannyuma akirizza kkooti okuwuumulamu eddakika 10 bafune omutaputa amanyi obulungi Oluganda.

Akomyewo nategezza nga bwatasobodde kufuna mukugu mu Luganda okuvvunula ekigambo kino era bwatyo asindise Bajjo e Luzira okutuusa ku Lwokubiri lwa wiiki ejja nga bafunye omutaputa omulala.

 ajjo lwe bamukwata ku womukaaga Bajjo lwe bamukwata ku Lwomukaaga

Ab'oluganda, abawagizi ne mikwano gya Bajjo wamu ne balooya be bakedde ku kkooti y'e Nakawa olw'amawulire ge basoose okufuna nga galaga nti eno gye bagenda okumutwala kyokka ku ssaawa 5:00 ez'okumakya ne babategezza nga bwatwalibwa ku kkooti ya Buganda Road era kkooti etude ku ssaawa 10:00 ez'olwegulo.  

Bajjo yakwatibwa ku Lwamukaaga lwa wiiki ewedde ab'ekitongole kya magye ekya 'Presidential Protection Guard' (PPG) bwe yabadde atuuzizza olukung'aana lwa bannamawulire ku Centenary Park ku bbaala ya Mix lounge ng'ali ne munne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex.

Eggulo (ku Mmande) yatwaliddwa ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku misango eminene ekya SIU e Kireka gye bamubuulizza kajogijogi w'ebibuuzo n'okukola sitatimenti ez'enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...